TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyeebase ne malaaya alemeddemu looko n'afiira mu kikolwa

Eyeebase ne malaaya alemeddemu looko n'afiira mu kikolwa

Added 7th February 2016

Eyeebase ne malaaya alemeddemu looko n’afiira mu kikolwa

 Abalippaganye nga babatwala mu ddwaaliro.

Abalippaganye nga babatwala mu ddwaaliro.

Omusajja yalabye ennyonta y’omukwano emutta kwe kusalawo yeegulireyo malaaya anaamuwa ku ssanyu.Ky’ataategedde nti Walumbe amuyita kubanga yalemeddemu looko mussajjawattu n’akutuka n’afa olwo malaaya eyabadde waggulu n’asigala mu katuubagiro ka kweggyako mulambo.

Abaabadde mu wooteeri baawulidde omukazi alaajana kwe kujja balabe ogubadde. Baamutuuseeko nga balaba alippaganye n’omusajja ne basooka okwekanga nga balowooza nti bano bali mu kwesanyusa nga n’omukazi ali mu kusinda olw’omukwano.

Yagenze mu maaso n’okulaajana bamuyambe nga bw’aleekaanira waggulu nti ‘help help help …’ olwo kwe kumanya nti ali mu kabiga. Yabannyonnyodde nga bwe baabadde mu kusinda omukwano kyokka munne n’alemeramu looko.

Omusajja eyabadde assa obubi waayise akaseera katono n’asirika omulundi gumu. Baakubye essimu okuyita emmotoka y’abalwadde eyatuuse mu bwangu olwo ne babasuulako essuuka nga bakyalippaganye ne bassibwa ku katanda k’abalwadde okubayingiza mmotoka.

Omusawo yasoose kuwuliriza ntunnunsi za musajja n’anyeenya omutwe okulaga nga bwe watakyali ssuubi lya kubeera mulamu.

Okusinziira ku ggulire lya Daily Mail erifulumira mu Bungereza, omusajja ono ataayatuukiriziddwa mannya nzaalwa y’e China era abantu abaabadde beetambulira agaabwe baawuniikiridde nga balaba abasawo babaddusa mu kagaali k’eddwaaliro okubatwala ku ambyulensi eyabatutte mu ddwaaliro kyokka ebigere byabadde bisigadde wabweru nga biraga bulungi nti baabadde musajja na mukazi.

Omukazi nga ye yabadde waggulu obwedda agenda yeetoziira kyokka nga talina bwe yeetakkuluza ku mulambo. Abatunuulizi be baabakutte ku vidiyo nga babatwala mu ddwaaliro olwo ne bagissa ku yintaneeti.

Okusinziira ku Daily Mail, vidiyo y’omusajja ono eyalemeddemu looko n’afa yasoose kulabikira ku mukutu gwa China ogwa Miaopai ekyalowoozesezza abantu nti bino byabadde mu China kyokka China yo ebyegaana.

Abasawo bagamba nti abantu okufiira mu kikolwa tekitera kubaawo naye nga bwe kibaawo kitera kuva ku mutima, omuntu n’akubwa puleesa nga kino kitera kuba ku basajja.

Omu ku basawo abakugu mu Bungereza, Dr. John Dean agamba nti abali mu kikolwa okulemeramu looko kiva ku binywa bya mukazi okwetugga ne bisiba omusajja nga nnatti ate ng’omusaayi bwe gweyongera mu busajja oluusi n’emisuwa ne gituuka okwabika.

Omusawo annyonnyodde Dr. Charles Kasozi, omusawo mu ddwaaliro e Mulago bwe yatuukiriddwa, yannyonnyodde nti omusajja okulemeramu looko kisoboka era kireetebwa ebintu ebiwerako kyokka nga kisobola okujjanjabwa.

Yagambye nti ekimu ku bivaako embeera eno, ye musajja okukozesa ebiragalalagala ebingi afune amaanyi g’ekisajja naddala Viagra, olwo obusajja ne bwereega ate ne bugejja nnyo n’okuwanvuwa embeera n’etabuka.

Mu kiseera kino omusajja aggwaamu amaanyi n’atasobola kweyamba yekka kuva mu mukyalaera bw’atayanguyirwa kuyambibwa afa mu kiseera kitono. Dr. Kasozi yategeezezza nti ekikolebwa mu mbeera ng’eno, kwanguya bantu bano kubatwala mu ddwaaliro ne balongoosebwa.

Yalabudde abasajja abalwadde ba sikoseelo nti bangu baakufuna mbeera eno bwe beegatta n’abakazi kubanga babeera banafu nga bwe yeetaba mu kikolwa kino ayinza okuggwaamu amaanyi n’alemererwa okuva mu mukyala.

Okusinziira ku mukutu gw’amawulire ogwa BBC, okulemeramu looko kwasooka kuwandiikibwako mu 1372, omusajja Pers Lenard bwe yasalawo okutabagana n’omukazi ku alutaali mu Klezia mu kiro ng’alowooza nti abakkiriza tebaamanye.

Kigambibwa nti yalemeramu looko abakkiriza ne babasanga enkeera ng’amaaso gabamyukidde ku alutaali. Abantu baawanuuza nti Katonda ye yali abasibiddemu looko olw’ekivve kye baali baakolera mu kifo kino Ekitukuvu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...