TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ennyonnyodde ekyaviiriddeko Besigye okukwatibwa

Poliisi ennyonnyodde ekyaviiriddeko Besigye okukwatibwa

Added 15th February 2016

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti Dr. Besigye nga y'akwatidde ekibiina kya FDC bendera okuvuganya ku Bwapulezidenti yayagadde okuyisa ebivvulu mu kibuga wakati n’abawagizi be songa kino tekikkirizibwa.

Enanga ng'ayogera eri abaamawulire ku CPS ku Mmande ku by'okukwata Dr. Kizza Besigye. EKIF: ERIA LUYIMBAZI

Enanga ng'ayogera eri abaamawulire ku CPS ku Mmande ku by'okukwata Dr. Kizza Besigye. EKIF: ERIA LUYIMBAZI

POLIISI evuddeyo n'etangaaza ku kyagiviriddeko okukwata Dr. Kizza Besigye eyabadde ali mu kunoonya obululu mu Kampala  n'azibwayo mu makaage e Kasangati.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti Dr. Besigye nga y'akwatidde ekibiina kya FDC bendera okuvuganya ku Bwapulezidenti yayagadde okuyisa ebivvulu mu kibuga wakati n’abawagizi be songa kino tekikkirizibwa.

“Twasazeewo okukwata Dr. Besigye ne tumuzzaayo mu makaage e Kasangati olwokuba nti yabadde avudde kw'ebyo ebyakkaanyizibwako omuli obutakuba nkung'aana mu bantu saako n’okuyisa ebivvulu mu kibuga kuba kyabadde kiyinza okuvaako embeera okutabuka,” Enanga bwe yagambye.

Yagambye nti Dr. Besigye yasoose n'akuba olukung'aana e Kamwokya gye yavudde n'asalawo okuyingira mu kibuga ng’awerekerwako abawagizi be wabula bwe yatuuse ku bitaala bya Jinja Road n'asangawo abasirikale abaabadde baduumirwa omuduumuzi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano, Abaasi Byakagaba ne bagezaako okumuwabula n'alemwa.

Yategezezza nti  Dr. Besigye yagambye Byakagaba nga bw'ayagala okukuba olukung'aana ku Nasser Road,  ewa Kisekka,  mu Kisenyi oluvannyuma afundikire mu Makerere Yunivasite wabula ng’ayagala okuyita ku Kampala Road n’ekibinja ky'abawagizi be ekimuwerekera.

Yannyonnyodde nti Byakagaba yagezezzaako okuwabula Dr. Besigye wabula n'alemwa kwe kusalawo okuyita DPC wa CPS, Aaron Baguma eyamuggye mu bawagizi  be ne bamuteeka mu mmotoka okumuvuga okumutwala ku poliisi ya CPS gye yaggyiddwa n'atwalibwa e Kira Road ate oluvannyuma n'addizibwayo mu makaage e Kasangati.

Yagambye nti okukwata Besigye ku Jinja Road kyagendereddwamu okumutangira okuyisa ekivvulu ku nguudo z’omu Kampala ekyabadde  kiyinza okuvaako okutabanguko  n’okwongera omujjuzo mu kibuga n'okutangira abasuubuzi abakolera mu kibuga wakati.

Yayongeddeko nti oluvanyuma lwokumutuusa ewuwe e Kasangati, Besigye yakkiriziddwa okuvaayo agende mu maaso n’olukung'aana lwe ku Yinivasite e Makerere ng'abasirikale bateereddwawo okumulung'amya ku ngeri gy'atambuzaamu emirimu.

Yagambye nti poliisi etandise okunoonyereza ku bigambibwa nti omubaka Nabilah Naggayi Ssembala yatulugunyiziddwa  era ne bamusaba addeyo awe obujulizi ku nsonga eno.

Wabula agava e Wandegeya galaga nti Besigye agaaniddwa okutuuka ku Yunivaasite e Makerere okukuba olukung'aana era ye n'abawagizi be Poliisi ebasaliddeko ku nkulungo y'e Wandegeya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...