TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebisale by'entambula okudda mu byalo byongezeddwa

Ebisale by'entambula okudda mu byalo byongezeddwa

Added 16th February 2016

Abel Baguma, akolera mu ppaaka ya Qualicell Bus Terminal mu Kampala, ebisale birinnye olw'abantu abangi abadda mu byalo nga bw'olaba ku nnaku enkulu kyokka nga tewali bava mu byalo kujja mu kibuga, ekitegeeza nti bbaasi bavuga nkalu okudda.

 Abamu ku basabaaze nga bakandaaliridde mu baasi paaka ya Qualicel mu Kampala oluvannyuma lw'ebbeeyi y'ebyentambula okupaala. EKIF: HERBERT MUSOKE

Abamu ku basabaaze nga bakandaaliridde mu baasi paaka ya Qualicel mu Kampala oluvannyuma lw'ebbeeyi y'ebyentambula okupaala. EKIF: HERBERT MUSOKE

EBISALE by'entambula bipadde mu kiseera kino ng'abantu badduka okudda mu byalo okulonda ate abalala bandiba nga beetegula kibuga olw'ebyabaddewo eggulu amasasi n'omukka ogubalagala bwe byaanyoose nga poliisi ng'etangira avuganya ku ntebe y'obwa Pulezidenti ku ku kaadi y'ekibiina kya FDC, Dr. Kizza Besigye okukuba kampiyini ze mu kibuga wakati.

Abel Baguma, akolera mu ppaaka ya Qualicell Bus Terminal mu Kampala, ebisale birinnye olw'abantu abangi abadda mu byalo nga bw'olaba ku nnaku enkulu kyokka nga tewali bava mu byalo kujja mu kibuga, ekitegeeza nti bbaasi bavuga nkalu okudda.

Mu kiseera kino ebisale byongeddwamu 10,000/-, ate awalala bikubisiddwamu emirundi ebiri okugeza Kabale awabadde watwalirwa 25,000/- kati 40,000/-, Mbarara 35,000/- okuva ku 15,000/- Gulu 50,000/- okuva ku 25,000/- Masaka 20,000/- okuva ku 10,000/- n'awalala.

Abagenda mu bitundu by'Ebugwanjuba nga Rukungiri, Kanungu, Sheema n'ebirala abeesimbyewo abaapangisizza bbaasi okutwala abalonzi babawe obululu nga kino kimazeewo bbaasi zonna olwo bakayungirizi baabwe ne basalawo okuwandiisa  abaliwo kyokka ng'okukuwandiisa olina okwogera gw'ogenda okulonda olwo bbaasi bwe zinaggya babalinnyise.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...