TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abeesimbyewo bayungudde ab'okukuuma obululu bwabwe

Abeesimbyewo bayungudde ab'okukuuma obululu bwabwe

Added 17th February 2016

Ab’enkambi ya Pulezidenti Museveni eya NRM, aba Dr. Kiiza Besigye mu FDC n’ab’ekisinde kya Go Forward ekya Amama Mbabazi bakoze enteekateeka enzijuvu ez’okukuuma akalulu awatali kutemye mu bifo byonna 28,010 ebiri mu Uganda.

 Aba Poliisi ya militale nga balawuna e Wandegeya okukkakkanya obukuuma emirembe

Aba Poliisi ya militale nga balawuna e Wandegeya okukkakkanya obukuuma emirembe

ABEESIMBYEWO ku bwapulezidenti bali mu keetalo, bakola enteekateeka ezisembayo okukuuma obululu bwabwe mu kulonda kw’enkya.

Ab’enkambi ya Pulezidenti Museveni eya NRM, aba Dr. Kiiza Besigye mu FDC n’ab’ekisinde kya Go Forward ekya Amama Mbabazi bakoze enteekateeka enzijuvu ez’okukuuma akalulu awatali kutemye mu bifo byonna 28,010 ebiri mu Uganda.

Enkya ku Lwokuna, kwe kulonda kwa Pulezidenti n’ababaka ba Palamenti 402 ng’abalonzi 15,277,198 abeewandisa be basuubirwa okweyiwa mu bifo ebironderwamu.

NRM EYUNGUDE 1,800,000 OKUKUUMA AKALULU KA MUSEVENI

Ssaabawandiisi wa NRM Justine Kasule Lumumba n’akulira akakiiko akanoonyeza Pulezidenti Museveni akalulu, Hajjati Janat Mukwaya bayungudde abantu akakadde kamu n’emitwalo 80 okukuuma akalulu.

Kino kitegeeza nti ku buli kifo awalonderwa, NRM egenda kubaako n’abantu abasoba mu 64 era buli omu kw’abo aweereddwa obuvunaanyizibwa bw’alina okutuukiriza okuva ku ssaawa 1:00 ez’okumaliiri ng’okulonda kutandise okutuuka akawungeezi ng’obululu buwedde okubalibwa.

Omwogezi w’akakiiko akanoonyeza Museveni akalulu, Mike Sebalu yategeezezza nti abantu abo abaayunguddwa, be bakulembeze ba NRM b’erina ku byalo byonna kumpi 60,000 ebiri mu Uganda.

Yannyonnyodde nti ku buli kyalo mu Uganda, NRM erinako abakulembeze 30 era bano baweereddwa obuvunaanyizibwa okukuuma akalulu ka Pulezidenti Museveni n’abeesimbyewo ku kkaadi ya NRM

Yagasseeko nti abagenda okukuuma akalulu ka NRM baweereddwa n’ebikozesebwa n’ensimbi ez’ebyokulya n’okunywa kubanga baweereddwa ebiragiro obutava mu bifo bironderwamu okutuusa ng’okubala akalulu kuwedde n’ ebikuvuddemu bissiddwaako emikono okuweerezebwa ku magombolola,.

FDC BAYUNGUDDE 800,000 OKUKUUMA AKALULU KA BESIGYE

ABA FDC bategeezezza nti ku buli ekifo ekirondebwamu, bataddewo abantu mukaaga okukuuma akalulu ka Besigye.

Omwogezi wa FDC , Ibrahim Semujju Nganda yategeezezza nti ku buli kifo ebironderwamu, FDC balinayo bagenti mukaaga, ekitegeeza nti balina bagenti 168,060 mu Uganda yonna.

Wabula yagambye nti bagenti bano bagenda kuyambibwako ab’ekibinja kya Power 10 (P10), nga bano be bantu kkumi FDC be yassa ku buli kyalo mu Uganda. Kino kitegeeza nti be bantu nga 600,000 mu Uganda yonna.

Semujju yagambye nti nti bw’ogatta bagenti 168,000 ku ba P10, FDC abeera erina abantu kumpi emitwalo 80.

Yagambye nti abantu abo bonna baamala dda okutendekebwa mu by’amateeka ag’ebyokulonda n’okukuuma akalulu era baaweereddwa n’ebikozesebwa omuli ebitabo, Pen, enkalala z’abalonzi abali mu buli kitundu n’ensimbi ez’ensako.

Dr. Besigye yategeezezza mu lukuhhaana lwa Bannamawulire eggulo nti abagenda okukuuma akalulu baweereddwa obuvunaanyizibwa okukunga abantu okujjumbira okulonda n’obutaseguka okuva mu bifo ebirondebwamu okuva ku ssaawa 1:00 ey’oku makya okutuusa nga buli kimu kiwedde.

AMAMA MBABAZI AYUNGUDDE BAGENTI 112,040

Enkambi ya Amama Mbabazi etegeezezza nti bayungudde bagenti bana ku buli kifo awalonderwa, ekitegeeza nti balina abantu 112,040 ku bifo byonna 28,010.

Omumyuka w’omwogezi w’ekisinde kya Go Forward , Saddam Gayira yategeezezza nti ng’oggyeeko bagenti abana (4) ku buli kifo awalonderwa, erina abantu 50 ku buli kifo awalonderwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...