TOP

Minisita Ruhindi yeekokkodde enkwe mu NRM

Added 23rd February 2016

Ruhindi agamba nti enkwe n'enkaayana mu by'obufuzi n'obukulembeze mu NRM bye bimu ku byaviiriddeko ekibiina okufiirwa ebifo ebyenjawulo.

 Minisita Fredrick Ruhindi

Minisita Fredrick Ruhindi

Ssaabawolereza wa Gavumeenti, Fredrick Ruhindi akkirizza ebyavudde mu kulonda okwabaddewo week ewedde nga mu kalulu kano yawanguddwa munnaFDC Micheal Kabaziguruka.


Ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire leero ku Lwokubiri, Ruhindi ategeezezza nti wadde waabaddewo  obumulumulu mu kulonda okwakaggwa e Nakawa, asazeewo okukkiriza ebyavudde mu kulonda kuno ebyasalidwawo abantu b'e Nakawa.

Ruhindi agamba nti talina nteekateeka yonna ya kwekubira enduulu mu kkooti ng'awakanya ebyavudde mu kalulu wabula n’asaba oyo amuddidde mu bigere okulaba ng'atuusa enkulaakulana eri abantu b'e Nakawa ng'akolaganira wamu ne Gavumeenti.

Ruhindi asabye bammemba ba NRM okuggya enkwe n'enkaayana mu by'obufuzi n'obukulembeze kuba bye bimu ku byaviiriddeko ekibiina kya NRM okufiirwa ebifo ebyenjawulo.

Mu ngeri y'emu, Ruhindi akakasizza eggwanga nti ofiisi ye nneetegefu okukwasaganya emisango gyonna egigenda okuloopebwa mu kkooti oluvannyuma ng'okulonda ku mitendera gyonna kuwedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...