TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa NRM oluwanguddwa mu kalulu puleesa n'emukuba n'afa

Owa NRM oluwanguddwa mu kalulu puleesa n'emukuba n'afa

Added 28th February 2016

Hajji Habiba Ntale 67 yakubiddwa puleesa n’afa ng’atwalibwa mu ddwaaliro e Masaka.

Sheikh Anas Ssesimba ng’ayogera. Mu katono Ntale bw’abadde afaanana.

Sheikh Anas Ssesimba ng’ayogera. Mu katono Ntale bw’abadde afaanana.

ABADDE ssentebe wa NRM mu muluka gwa Nyendo Ssenyange ate nga y’abadde atwala ettwale ly’Obusiraamu mu Munisipaali y’e Masaka akubiddwa puleesa n’afa oluvannyuma lwa munne eyabadde yeesimbyewo ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Masaka okuwangulwa.

Hajji Habiba Ntale 67 yakubiddwa puleesa n’afa ng’atwalibwa mu ddwaaliro e Masaka.

Abooluganda lwa Ntale baagambye nti, yabadde mulamu kyokka bwe yafunye amawulire g’okuwangulwa kwa munnakibiina munne ate nga gwe yabadde awagira, Joseph Kalungi puleesa n’emukuba.

Bwe yabadde ayogera mu kuziika, Sheikh Anas Ssesimba nga ye muteesiteesi w’emikolo ku kitebe ky’Obusiraamu e Kampala yasabye abantu okwetegekera olugendo olubatwala eri Mukama kuba okufa tteeka.

Ebikonge mu kibiina kya NRM n’abakulembeze ba disitulikiti y’e Masaka beetabye mu kuziika.

Omugenzi alese bannamwandu basatu, abaana n’abazzukulu. Yaziikiddwa ku kyalo Ssenyange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...