TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'ekkanisa ya Uganda bategese empaka za nnalulungi

Ab'ekkanisa ya Uganda bategese empaka za nnalulungi

Added 29th February 2016

Ab'ekkanisa ya Uganda bategese empaka za nnalulungi

 Abavuganya ku bwa nnalulungi bw'ekkanisa ya Uganda

Abavuganya ku bwa nnalulungi bw'ekkanisa ya Uganda

ABAVUBUKA b’ekkanisa ya Uganda baategese empaka za nnalulungi okunoonya omuwala asinga obubalagavu  mu kwambala obulungi mu nyambala y’ekikulisitaayo akulembere bavubuka banne okubuulira engiri n’okubuulirira abaana abawala.

Empaka zino baazitongozza ku ssande ku Zion Gardens e Kabowa ku kkanisa ya St. Stephens  era abawala abwera 10 okuva mu bulabirizi bw’e Kampala beebeetabye mu mpaka zino.

Kenneth Kigozi Lubwama omwogezi w’empaka zino agamba nti baazitegese  nga banoonya omuwala omuvubuka ayambala obulungi era asobola okwogera obulungi eri abantu ng’ono  yajja okukulembera bavubuka banne okubunyisa  enjiri mu bavubuka n’okubabuulirira ku neeyisa egwanidde omukulisitaayo ssaako okubasomesa ku bulwadde bwa mukenenya obw'ongedde okweriisa enkuuli ensanji zino naddala mu baana  abawala.

Agambye nti empaka zino bagenda kuzitambuza mu bulabirizi bw’ekkanisa ya Uganda okwetoloola eggwanga lyonna nga basookedde mu bw’e Kampala era nga zaakumala emyezi etaano ng’omuwanguzi wa kwewangulira TV ggaggadde n’ebirabo ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...