TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusuubuzi bamusse n'abakozi be 2 ne bamulesa abaana abato

Omusuubuzi bamusse n'abakozi be 2 ne bamulesa abaana abato

Added 3rd March 2016

ENGERI omusuubuzi Didas gye yakubiddwa amasasi n’attibwa n’abakozi be babiri ereeseewo ebibuuzo, okukkakkana nga poliisi ekimye mukazi we Christine agiyambeko mu kunoonyereza.

 Abamu ku baana b’omugenzi abasembayo. Ku ddyo, Emmotoka mwe baabattidde

Abamu ku baana b’omugenzi abasembayo. Ku ddyo, Emmotoka mwe baabattidde

ENGERI omusuubuzi Didas gye yakubiddwa amasasi n’attibwa n’abakozi be babiri ereeseewo ebibuuzo, okukkakkana nga poliisi ekimye mukazi we Christine agiyambeko mu kunoonyereza.

Abatemu ab’emmundu baateeze Didas Tukundane, 42, ku ggeeti eyingira amakaage e Busega – Kibumbiro Zooni B era baamukubye amasasi 8 mu kifuba ne batwaliramu n’abakozi be babiri Lauben Niwamanya ne Justus Muhereza.

Muliraanwa Richard Mubiru yategeezezza Bukedde nti, amasasi agaakubiddwa mu ddakiika nga ssatu zokka gaasusse mu kkumi era bwe gaasirise ku ssaawa nga 3:30 ez’ekiro ne bawulira pikipiki esimbula, nga kiteeberezebwa nti abatemu baabadde batambulira ku bodaboda.

Abatemu tebalina kye baatutte era Didas yasangiddwa agudde mu mbiriizi z’omutto gw’emmotoka ye ey’ekika kya Noah UAT 210H nga n’amasimu ge gagudde wansi w’omutto. Didas ye yabadde avuga era ng’endabirwamu ziri wansi, yabadde alinze baggulewo ggeeti, era kino kyayanguyirizza abatemu okumukuba.

Omugenzi Didas Tukundane

 

Baliraanwa abaalingizza okulaba ekigenda mu maaso baategeezezza Bukedde nti abakozi baabadde mu mutto gw’emabega. Olwo abatemu kwe kukuba amasasi nga bagayisa mu ndabirwamu z’emabega ne gakuba Lauben ne Justus.

Justus yafiiriddewo ate Didas eyabadde asigaddeko ekiyiriitira, n’afa ng’atuusibwa mu ddwaaliro e Lubaga. Omukozi owookubiri Lauben baamwongeddeyo mu ddwaaliro Ekkulu e Mulago wabula poliisi yategeezezza nti, naye yafudde ku makya g’eggulo. Emmotoka yabadde ebunye omusaayi ogwakulukuse wansi w’emitto.

Mu kiro ky’Olwokutaano oluwedde ku ssaawa 4:00 ez’ekiro, abazigu abaabadde ku bodaboda tebaatidde byakwerinda ebinywezeddwa mu Kampala n’emiriraano ne bateega Fred Miiro Maneja mu kkampuni ya Gal’s Sports Betting ng’ayingira ggeeti y’amakaage e Namasuba ne bamukuba amasasi ne babulawo n’ensawo ya ssente gye yabadde annyuse nayo.

Didas naye baamusse mu ngeri y’emu kyokka enjawulo yabadde emu yokka, nti bano tebalina kye baatutte ekirowoozesa poliisi nti waliwo omuntu eyapangisizza abatemu nga bajjiridde bulamu.

ENGERI GYE BAYINGIZZAAMU NNAMWANDU

Ebimu ku poliisi by’esinziddeko okukima Nnamwandu Christine Kaitesi akole siteetimenti, y’engeri gye yavudde mu mmotoka ya bba mwe baabadde batambulira bombi n’asooka bba awaka, ate nga bulijjo babadde bannyuka bombi era ne batambulira mu mmotoka y’emu okudda awaka.

Kyokka Christine yannyonnyodde nti, bombi balina emmotoka era ku luno yabadde atambulidde mu yiye ey’ekika kya Subaru.

Yagambye nti ku makya Subaru yabadde eyonoonese omupiira n’agireka ku Shell e Mengo n’agenda ku Kafumbe Mukasa Road – Kisenyi we balina edduuka erisuubuza ssukaali, butto, omuceere, obuwunga n’ebintu ebirala. Christine ne bba babadde bakola mu dduuka limu eriyitibwa Tina Traders ku kizimbe kya Kasajja.

Poliisi yagasseeko bye yafunye okuva mu baliraanwa abaagitegeezezza nti, amasasi nga gamaze okuvuga, Christine yakubye ku ssimu ya bba era bwe yalabye teri agikwata kwe kufuluma n’alaba bba ng’agudde wakati w’emitto.

Nti mu ngeri ey’obumalirivu, yayingidde emmotoka n’agisimbula wabula bwe baamubuuzizza ky’agezaako okukola n’abategeeza nti atwala bba mu ddwaaliro, era omu ku baliraanwa kwe kukiwakanya ne baleeta emmotoka endala “Double Cabin” mwe baabatwalidde.

Abaserikale nga bali mu kifo awaabaddeb ettemu

 

Abaabaddewo baategeezezza poliisi nti, Nnamwandu teyalaze kabonero konna ka kwekanga, kyokka abamuwolereza baagambye nti, omuntu bw’afuna ekikangabwa nga kino awunga era ayinza okweyisa mu ngeri eteri yaabulijjo.

NNAMWANDU NE BBA BABADDE N’OBUTAKKAANYA

Mu bujulizi obulala poliisi bw’enoonyerezaako mwe muli obutakkaanya obugambibwa nti, bubaddewo wakati wa Didas ne mukazi we. Nti baazimba amaka ag’ebbeeyi e Buloba Kirimamboga nga balina entegeka esenguka e Busega bateekewo abapangisa olwo bagende awagazi era nga baali bategese kugiyingira December 2015, wabula ne kitatuukirira.

Omukazi nti abadde ateebereza nti, Didas alinayo omukazi omulala gw’ayagala okuteeka mu maka ago; wabula Didas abadde amugumya lunye nti wakyaliwo ebimalirizibwa ku nnyumba eyo era bwe binaggwa baakugiyingira.

Gye buvuddeko nti baafunamu n’obutakkaanya obulala nga buva ku ssente ezibula mu bizinensi mu ngeri etategeerekeka nga Didas abadde alumiriza mukazi we nti amanyi ku mayitire ga ssente ezo kubanga edduuka balibeeramu babiri.

Obutakkaanya bweyongedde ku ntandikwa y’omwaka guno, ensimbi obukadde 17 bwe zaabulira mu mikono gy’omukyala era n’annyonnyola bba nti abazigu baamuteeze ne bazimubbako ng’adda awaka!

Kuno kwegattiddwaako ekintu ekitali kya bulijjo, Didas bwe yatikkudde emmotoka ya ssukkaali nti ne wabeerawo omuvubuka omulala eyaleese emmotoka n’atandika okutikka ezimu ku nsawo za ssukaali, kyokka Didas n’amusangiriza.

Yamukunyizza kyokka bye yazudde nga biraga nti lino lyabadde kkobaane eryabaddemu omuntu ow’omunda.

Emmotoka Didas n'abakozi be mwe baabattidde. EBIFAANYI BYA PONSIANO NSIMBI

 

Nnamwandu baamututte ne Asafu Majanti ow’ebyokwerinda ku kyalo oluvannyuma lwa poliisi okuzuula nti amangu ddala ng’obutemu bwakagwawo, y’omu ku baayogedde ne Nnamwandu ku ssimu ate era baludde nga bakolagana nnyo.

Wabula Majanti yannyonnyodde nti yafunye essimu eyakubiddwa Nnamwandu olw’obuvunaanyizibwa bw’ebyokwerinda bw’alina ku kyalo nga buli awagudde obuzibu gwe basooka okutegeeza.

Didas alese abaana bana nga kuno kuliko abasatu b’azaala mu Christine n’omulala omukulu ali mu S.5 mu Lakeside College Luzira. Omwana asembayo obuto wa myaka esatu.

Didas ne mukazi we babadde bajjumbize mu mirimu gya Klezia y’e Busega kyokka bafaaza abazze eggulo okusabira mu maka baasazizzaamu enteekateeka bwe baabategeezezza nti, ate Nnamwandu poliisi emututte.

Olunaku lw’eggulo lwonna, Nnamwandu yalumaze ku poliisi era akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu ttundutundu lya Kampala South (omuli Katwe, Nateete n’emiriraano) Emmanuel Benon Ayebare yagambye nti bakuhhaanyizza obujulizi obusookerwako kwe bagenda okutandikira okunoonyereza ku butemu buno.

Ebimu ku bisosonkole by’amasasi baabisanze mu mmotoka. Ayebare yategeezezza nti abatemu baakozesezza mmundu entono ey’ekika kya bbaasitoola.
Haji Abdu Kaheesi abadde mukwano gwa Didas nga bombi bakolera ku Kafumbe Mukasa Road yagambye nti, omugenzi abadde mukkakkamu ate ng’ayanguyira buli muntu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?