TOP

Minisita bamulagidde asasule obuwumbi 2

Added 4th March 2016

Ababaka era baagala minisita ono avunaanyizibwa ku kusikiriza bamusigansimbi okutandika wano bizinensi, Mw. Gabdriel Ajedra alekulire oba ssi ekyo Pulezidenti Museveni amugobe bunnambiro.

 Minisita Gabriel Ajedra

Minisita Gabriel Ajedra

ABABAKA bagambye  minisita asasule ensimbi obuwumbi 2 n'omusobyo nga bamulumiriza okugabira bannaggagga ettaka lya gavumenti n’afiiriza Uganda obutitimbe bw’ensimbi.

Ababaka era baagala minisita ono avunaanyizibwa ku kusikiriza bamusigansimbi okutandika wano bizinensi, Mw. Gabdriel Ajedra alekulire oba ssi ekyo Pulezidenti Museveni amugobe bunnambiro.

Minisita Ajedra ababaka bamulumiriza nti yavuluga ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusikiriza bamusigansimbi okutandika wano bizinensi ekya ‘Uganda Investment Authority’ n’afiiriza gavumenti obutitimbe bw’ensimbi.

Bino biri mu lipooti y’akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku kulondoola enzirukanya y’ebitongole bya gavumenti akakulirwa omubaka Ibrahim Ssemujju Ng’anda.

Akakiiko kaafulumizza lipooti eyavudde mu kubuuliriza ku nzirukanya y’amakampuni ga gavumenti okuva mu mwaka 2011/1012 ne 2012/2013 oluvannyuma lw’okwekenneenya lipooti za Ssababalirizi w’ebitabo bya gavumenti ku nzirukanya yaago.

Ssemujju yasomedde ababaka  lipooti ng’alumiriza nti Minisita Ajedra yagabira bannaggagga ettaka lya gavumenti mu kibangirizi ky’amakkolero e Namanve eriweza yiika 30.

N’agamba nti mu Namanve ku lw’e Jinja yiika egula obukadde nga 700 n’olwekyo ensimbi zonna ezandivudde mu kutunda ettaka eryo Ajedra azisasule.

Yagambye nti  ekitongole kya ‘Uganda Investment Authority’ kyamala ebbanga nga tekirina lukiiko  lukifuga (board) era minisita kwe kuwamba obuyinza buno n’akola buli kika kya mivuyo omuli okugaba ettaka lya gavumenti .

Yagambye nti ettaka ku kkampuni ezimu ezaalina okulifuna n’aliwa ye z’ayagala. Bagamba nti bw'ogattako Minisita okukola emirimu gy’olukiiko olufuga ne bwe yandibadde agikoze bulungi kikolwa kya kumenya mateeka.

Baamulumirizza nti yakozesa abakozi yintavuyo n’okubawa emirimu ng’ate kino kyandibadde kikolebwa bantu balala abavunaanyizibwa ku nsonga zino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...