
Omwana ng’akyali mu ddwaaliro e Mulago.
OMWANA yamize ekinyeebwa n’atwalibwa e Mulago ng’embeera mbi. David Nkurunziza ow’emyezi 10 ekinyeebwa yakimize azannya ne banne awaka wiiki ewedde.
Kitaawe Bandcosta Muteza ow’e Nakasajja ku luguudo lw’e Gayaza agamba nti yatuuse awaka ng’omwana muyongobevu ne bamugamba nga bw’amize ekinyeebwa.
Baagezezzaako bakimuggyemu ne kigaana ne bamutwala mu ddwaaliro e Naggalama bano ne bamugoba oluvannyuma n’atwalibwa e Mulago. Wabula nayo bwe baatuuseeyo ne bakabatema nti ekyuma ekiggyamu ebiwagamidde mu mimiro kyafudde ne babasindika mu ddwaaliro e Mbale.