TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyali mukwano gw'abaana bange ne mmuwasa bamupasuddeko

Eyali mukwano gw'abaana bange ne mmuwasa bamupasuddeko

Added 6th March 2016

Eyali mukwano gw'abaana bange ne mmuwasa bamupasuddeko

 Tebandeke eyakubye Nakaweesa embaga makeke.

Tebandeke eyakubye Nakaweesa embaga makeke.

NG’OMUZADDE yenna bw’aba, abeera alowooza ku baana be. Nange omutima gwannumiranga bawala bange abaali ku yunivasite e Makerere ne hhendanga okubalabako.

Mu kukyala kuno, gye nasanganga ne mwanamuwala Nakaweesa ng’ono yali mukwano gwa bawala bange era kumpi naye yali muwala wange. Ebbanga lye namala nga ndaba Nakaweesa, namuzuulamu ekyama era ne mmusaba okufuu

ka mukwano gwange ow’omunda. Nasalawo okumuwasa kyokka nga mmutwalira mu kifaananyi ekya bawala bange. Mu kino nali mmanyi nfunye ekijuujulu ekinannaazaako ennaku ya mukazi wange Mukama gwe yayita.

Mwanamuwala ono namala naye emyaka ebiri era n’anzaalira abaana babiri okuli ow’omwaka ogumu n’ow’emyaka ebiri, be njagala kkooti ekkirizise maama waabwe abanzirize mbeekulize. Twafunamu obutakkaanya n’anoba era n’agenda n’abaana.

Mu myezi omusanvu egyasooka nga yaakava ewange namuwanga buli kyetaagisa mu bulamu bwe n’abaana baffe.

Bw’atyo nnaggaga w’e Mukono Tonny Kabunga,63, bw’atandika ng’anyumya ku mukwano gwe ne Peninah Nakaweesa,35, gwe baamupasuddeko n’amutuusa n’okugenda mu kkooti abanje abaana be be baazaalira mu mukwano.

MAAMA W’ABAANA AFUMBIRWA

Nze nali mmanyi nti omusajja bw’awasa omukazi alina abaana, ateekeddwa okubalabirira mu buli mbeera. Okutuuka okugenda mu kkooti nneekulize abaana bange, kimaze kumpitirirako kubanga maama w’abaana wadde yafumbirwa mmuwa ssente z’okulabirira abaana nnyingi okusinga we nabeerera n’abaana bange.

Okuva lwe twayawukana, mmuwa ssente okuva ku z’eddwaaliro, ez’okulya n’ez’ennyumba nga buli mwezi nsasula 300,000/- ez’enju. Zino mbadde nzisasula mu Bank of Africa, ne lisiiti zonna nzirina. Endala mbadde nziweerereza ku ssimu yange era obubaka bwonna obwa ‘mesegi’ mbulina, ndi mwetegefu okubuleeta mu kkooti.

Nali mmanyi maama w’abaana gy’ali alabirira bulungi abaana baffe, namwekanze mu mawulire ga Bukedde nga bamukubye embaga ne ndabira ddala nga takyalina budde bw’abaana.

Ekyampalirizza okutwala maama w’abaana mu kkooti, kwe kuba nti yafumbiddwa olwo ne nsala ku ssente z’ennyumba 300,000/- ze mmuwa buli mwezi nga kati mmuwa 150,000/-. Ye agamba ssente zino ntono tezimumala era wano we wavudde obuzibu. Ensonga endala, njagala kwekuliza baana bange kuba nze nakuza abaana 9 nga nnyaabwe anfuddeko era nnina obumanyirivu.

Abaana bange njagala mbakulize mu ddiini yange kuba nnyaabwe yafumbiddwa Musiraamu era n’amuwoowa. Bano kijja kubakaluubirira okunkuliza abaana mu ddiini yange. Njagala mmuwewuleko n’omugugu, afune obudde obuwera bw’awa bba. Nakaweesa kirabika yeegasse ne bba bammaleko emirembe nga buli kadde bankanda okuleeta ssente nti bazisaasaanya ku baana.

Kabunga ayagala abaana be bamuddizibwe

 

MAAMA W’ABAANA AYOGEDDE

Kituufu nafumbiddwa kuba nabeera n’omusajja oyo nga wadde yanzaalamu abaana, yagaana okwanjulwa ewaffe wadde okunkuba embaga. Bwe yangoba, nange kwe kufuna eyampasizza mu butongole era nasiramuse eyali Peninah kati nafuuse Hanifa Tebandeke kuba namwanjudde mu bazadde bange ate n’ankuba embaga ne batuwoowa ku muzikiti gw’e Nakifuma.

Taata w’abaana bwe yategedde nti nfumbiddwa ne bankuba ne mu mawulire ga Bukedde, n’atabuka. Yali amanyi nti angobye nsigale ku kimu kyokka, kumukubira ssimu kumpa buyambi bw’abaana Nze okufumbirwa nga nnina abaana tekiggyaako kitaabwe buvunaanyizibwa kuba abaana balina eddembe okubeera ne nnyaabwe nga kitaabwe bw’abawa obuyambi.

Njagala akimanye nti abaana bange bato, tebannatuuka kuva ku nze nnyaabwe. Kituufu yakuza abaana be abakulu naye ebiseera ebyo teyalina mukyala waka. Kati yawasa era nze ndowooza tayinza kukuza baana bange.

Wadde nafumbirwa, njagala agende mu maaso n’okuwa abaana obuyambi kuba ddembe lyabwe kitaabwe okubalabirira mu buli kye beetaaga. Wadde yandoopye njagala kkooti emuwalirize agende mu maaso n’okuwa abaana be obuyambi era abandekere kuba bakyali bato abeetaaga omukwano gwa nnyaabwe.

Nakaweesa n’abaana kitaabwe b’amusaba.

 

TUSISINKANA NE TONNY

Taata w’abaana, Mw. Kabunga twasisinkana ku dduuka lyange e Wantoni Mukono mu 2012 olwo nga ku yunivasite e Makerere n’avaayo dda ne ntandika n’okusomesa era ssente ze nakuhhaanya mwe nakola edduuka. Twatta ekyama era ne tutandika okubeera ffenna.

Lumu mba ndi awaka mbikkula alubamu y’ebifaananyi ne ndabamu omuvubuka bwe twasoma e Makerere ayitibwa Julius Kabunga. Namubuuza bw’amuyita n’antegeeza nti mutabani we. Nneesikamu ne ntya nga muli hhamba nti eh kiki kino kyendiko omusajja gwenfumbiddwa mukulu bwati. Omwami ono yali yahhamba nti alina emyaka 45 naye muli nneebuuza owa 45 gy’aba ng’alina omwana omukulu bwati.

Naguma ne nsalawo nti ekizze kizze nga musubira okukola ebintu eby’ekikulu naye si bwegwali. Lumu tuba tutegese akabaga k’amazaalibwa ge awaka wano we ntegeerera nti alina emyaka 60 kuba yagyogera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abatuuze nga bakungubagira munnaabwe Nsejje eyattiddwa Agaba omusirikale wa poliisi.  (Ekif.  Henry Nsubuga)

Owa poliisi akubye omutuuze...

Abatuuze n'abasuubuzi mu kabuga k'e Kebembe mu ggombolola y'e Kyampisi mu disitulikiti y'e Mukono baaguddemu enkyukwe...

Bp. Zziwa ng'ayogera mu kusabira omwoyo gw'omugenzi

Bp. Zziwa atangaazizza ku b...

Bp Zziwa ajulizza akatabo omuli ebbaluwa y'ebyo ebyakkanyizibwako ng'olukiiko lw'Abeepisikoopi bonna mu Uganda...

Munnamateeka wa Kyagulanyi, Sseggona (wakati) ng’awayaamu n’omuwandiisi wa NUP, , Lubongoya  (ku ddyo) ku kkooti .

Buubuno obukwakkulizo gavum...

GAVUMENTI eyagala Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alangirire nti tagenda kwetaba mu bikolwa bya kwekalakaasa...

Abantu nga balwana okutaasa ttaanibboyi eyabadde alaalidde mu byuma.

Ensiitaano y'okutaasa ttani...

POLIISI n'abadduukirize kyabatwalidde essaawa 11nnamba okutaasa ttanibboyi Abdu Sserunjogi ebyuma by'emmotoka gwe...

Loodi Meeya Lukwago.

Lukwago anaakolagana atya n...

MUNNAMATEEKA Erias Lukwago 50 asuubirwa okulayizibwa mu wiiki esooka eya June 2021 okutandika ekisanja ekyokusatu...