
Kateshumbwa
ABAGUZI ba ssekinnoomu n’abasuubuzi bakulugguka okutuuka ku kitebe ky’ekitongole ky’omusolo ekya URA e Nakawa okulambula ebintu eby’enjawulo ebigenda okutundibwa ku nnyondo.
Ebintu ebigenda okutundibwa by’ebyo bannannyini byo abaalemereddwa okubisasulira omusolo mu bbanga eribalagibwa mu mateeka nga biri ku ofi isi ya URA e Jinja, e Ntebe, Malaba, Fort Portal, Mbarara ne Katuna.
Okulambula ebintu bino kukomekkerezebwa lwaleero nga March 7, 2016 olwo okutunda ku nnyondo kubeewo nga March 16 ku ssaawa 3:00 ez’oku makya.
Mu kiwandiiko ekyafulumizbwa Dickson Katesumbwa, kamisona mu URA era nga y’avunaanyizibwa ku byamaguzi ebiyingizibwa n’okufulumizibwa eggwanga yagambye nti, bonna abagenda okwetaba mu kutunda kuno balina okusooka okusasula 10,000 nga za mpapula okuli ebigenda okutundibwa era nga si zaakukuddizibwa.
Mu bye bagenda okutunda mulimu emmotoka ezimaze mu bbondi emyezi egisoba mu mwenda n’ebyamaguzi ebirala okuli ne pikipiki.
ABAGUZI ba ssekinnoomu n’abasuubuzi bakulugguka okutuuka ku kitebe ky’ekitongole ky’omusolo ekya URA e Nakawa okulambula ebintu eby’enjawulo ebigenda okutundibwa ku nnyondo. Ebintu ebigenda okutundibwa by’ebyo bannannyini byo abaalemereddwa okubisasulira omusolo mu bbanga eribalagibwa mu mateeka nga biri ku ofi isi ya URA e Jinja, e Ntebe, Malaba, Fort Portal, Mbarara ne Katuna. Okulambula ebintu bino kukomekkerezebwa lwaleero nga March 7, 2016 olwo okutunda ku nnyondo kubeewo nga March 16 ku ssaawa 3:00 ez’oku makya. Mu kiwandiiko ekyafulumizbwa Dickson Katesumbwa, kamisona mu URA era nga y’avunaanyizibwa ku byamaguzi ebiyingizibwa n’okufulumizibwa eggwanga yagambye nti, bonna abagenda okwetaba mu kutunda kuno balina okusooka okusasula 10,000 nga za mpapula okuli ebigenda okutundibwa era nga si zaakukuddizibwa. Mu bye bagenda okutunda mulimu emmotoka ezimaze mu bbondi emyezi egisoba mu mwenda n’ebyamaguzi ebirala okuli ne pikipiki.