TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omwana afiiridde mu kinnya ky'essomero ekya kazambi

Omwana afiiridde mu kinnya ky'essomero ekya kazambi

Added 16th March 2016

Francis Magunda asoma mu Baby Class ku Bright Community Nursery and Day Care e Mpereerwe mu Nammere Zooni ye yafiiridde mu kinnya gy’essomero.

 Maama w’omwana Nakalema (ku ddyo) ng’ayaziirana. Asooka ku kkono ye Magunda eyafudde.

Maama w’omwana Nakalema (ku ddyo) ng’ayaziirana. Asooka ku kkono ye Magunda eyafudde.

OMWANA ow’emyaka esatu abadde azannya ku ssomero agudde mu kinnya kya kazambi n’afiiramu.

Francis Magunda asoma mu Baby Class ku Bright Community Nursery and Day Care e Mpereerwe mu Nammere Zooni ye yafiiridde mu kinnya gy’essomero.

Omu ku basomesa yategeezezza nti omwana yagudde mu kinnya ku ssaawa nga 4.00 bwe baabadde bafulumyemu ku ‘break’ era abasomesa baawulidde ng’akaaba kyokka nga tewali asobola kumuggyayo.

Yagambye nti baasobodde okuyita poliisi y’e Nammere kyokka baagenze okumuggyayo ng’afudde.

Abazadde olwawulidde nti waliwo omwana afiiridde ku ssomero ne badduka okugendayo kyokka poliisi n’ebalemesa okuyingira kubanga yabadde ekyekebejja ekifo.

Maama w’omwana, Nakalema omusango yagutadde ku bannannyini ssomero abataabikka kinnya bulungi era n’abanenya obutafaayo kusikayo mwana we mangu.

“Bwe bankubidde essimu nasoose kulowooza nti bannimba kubanga owange era y’afa. Kyokka nagenze okutuuka ku ssomero nga ddala Francis mufu,” bwe yategeezezza ng’ali mu maziga agatagambika.

N’agamba nti yejjusa lwaki yawalirizza omwana we okugenda ku ssomero kubanga yabadde agaanye era bwe yatuuse ku ssomero yakaabye nnyo ekitali kyabulijjo kyokka teyategedde nti yabadde agenda kufa.

Taata w’omwana yagambye nti ekimubobbya omutwe be bannannyini ssomero okumugaana okulaba ekinnya omwana we mwe yafiiridde. N’agamba nti omwana we yafudde bugayaavu kubanga oluwummula lubadde luwanvu nga babadde basobola bulungi okulongoosa essomero obulungi nga mulimu n’okuziba ebinnya byonna.

Bannannyini ssomero baagaanye okubaako kye boogera ku kufa kw’omwana ne beekweka abaamawulire.

Akulira poliisi y’e Kanyanya, C/ASP Dickens Tweheyo yagambye nti baayitiddwa ng’omwana agudde mu kinnya ky’essomero kyokka baagenze okumuggyayo ng’afudde.

N’agamba nti baamaze dda okukwatagana n’abakulira essomero wamu n’abazadde b’omwana okulaba ng’omulambo guggyibwa mu ggwanika e Mulago.

Yagambye nti poliisi enoonyereza ku kufa kw’omwana ono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...