TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nnamwandu w'omusuubuzi eyatemulwa olumutadde n'addayo ku mulimu

Nnamwandu w'omusuubuzi eyatemulwa olumutadde n'addayo ku mulimu

Added 19th March 2016

CHRISTINE Kaitesi, Nnamwandu w’omusuubuzi Didas Tukundane, eyakubwa amasasi n’abakozi be babiri ku ggeeti y’amaka ge e Busega wiiki bbiri eziyise, azzeeyo ku mirimu gye egy’edduuka mu Kisenyi.

 Kaitesi ng’abala ssente mu dduuka lye.

Kaitesi ng’abala ssente mu dduuka lye.

CHRISTINE Kaitesi, Nnamwandu w’omusuubuzi Didas Tukundane, eyakubwa amasasi n’abakozi be babiri ku ggeeti y’amaka ge e Busega wiiki bbiri eziyise, azzeeyo ku mirimu gye egy’edduuka mu Kisenyi.

Kino kiddiridde poliisi okumukwata n’emusiba ng’emuteebereza nti yali mu lukwe olwatemula bba.

Ku Lwokuna, Kaitesi yazzeeyo ku dduuka lye erya Tina Traders eriri ku Kafumbe Mukasa Road mu Kisenyi n’ategeeza nti emirimu gikyamukaluubiridde olw’okuba bba ye yali asinga okugitegeera n’asaba abantu bamusabire.

Kaitesi, yayimbuddwa ku ntandikwa ya wiiki eno okuva ku poliisi e Katwe wamu n’akulira ebyokwerinda mu Kibumbiro Zooni e Busega, Asaf Mujanti.

Agamba nti ebigambo ebyayogerwa abantu nga bba afudde bye byavaako okumusiba kyokka ku ye, bba ye yali kitaawe era nnyina kubanga bukyanga amuganza kati emyaka 16.

Ayagala poliisi ekole okunoonyereza ekituufu kimanyibwe. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...