
Namukasa ne Obamu ku poliisi.
ZANNY Namukasa 29, agambibwa okuba omufumbo ng’abeera Mpererwe ku Divine ku luguudo lw’e Gayaza alumirizza Phillip Obamu, omukozi mu kitongele ky’ebyempuliziganya ekya Rok Telecom e Bugoloobi ku poliisi ng’agamba nti baavudde mu bbaala ne bagenda okwesanyusaamu ng’amusuubizza okumuwa 50,000/- zimuyambe mu bizibu bye eby’ekikazi kyokka bwe baatuuse okwawukana n’agaana okuzimuwa.
Ababiri bano, kigambibwa nti, nga tebannagenda ku poliisi, baasoose kulwanira mu loogi ya Edna Guest House e Kanyanya gye baasuze bombi, era bannannyini loogi be baayise poliisi etaase abaagalana bano.
Namukasa nga bw'afaanana. Ono yaloopye Obamu eyamuguze n'agaana okumusasula. Wano babadde ku poliisi e Kanyanya. Ebifaananyi bya Henry Kasomoko
Namukasa yategeezezza nti ku Lwokutaano, yabadde ne mikwano gye ku bbaala emu e Kanyanya, Obamu n’ajja we baabadde n’atandika okunyumya nabo n’okubagulira omwenge n’ebyokulya.
Yagambye nti, oluvannyuma mikwano gye gyamuleseewo n’omusajja ono ekyamuwalirizza okumusuula obugambo bw’omukwano n’okumusuubiza okumuwa 50,000/- singa akkiriza okusula naye.
“Olw’okubanga twabadde tukkiriziganyizza ng’abantu abakulu, twapangisizza loogi mwe twasuze ekiro kiramba nga tampummuzzaamu”. Namukasa bwe yategeezezza.
Yagambye nti ekyamuggyeeko waya, ye Obamu enkeera ku Lwomukaaga okumusaba ssente ate n’amwefuulira nga bw’aliko banne be yakolaganye nabo ne bamubba emitwalo 48 ze yabadde nazo mu nsawo.
Poliisi yasibye abaagalana bano oluvannyuma lw’okubaggulako omusango ku gw’okwefuula ekitagasa eri abantu abalala ku fayiro nnamba SD: 24/26/03/2016.
Waliwo omu ku bantu abaabadde bazze ku poliisi eno ku nsonga endala ye yategeezezza nga Namukasa bw’ali omufumbo era n’okuva awaka yabadde amugambye nti agenze waabwe kulya lunaku lukulu.
Akulira poliisi y’e Kanyanya C/ ASP Dinkens Tweheyo yategeezezza nti ababiri bano bagenda mu kkooti bavunaanibwe mu mateeka.