TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kaaya Kavuma bamututte mu kkooti lwa bintu bya mufu

Kaaya Kavuma bamututte mu kkooti lwa bintu bya mufu

Added 29th March 2016

EYALI omumyuka wa Katikkiro wa Buganda, Godfrey Kaaya Kavuma akubiddwa mu mbuga lwa kwekomya mmaali y’omufu.

 Kaaya Kavuma

Kaaya Kavuma

EYALI omumyuka wa Katikkiro wa Buganda, Godfrey Kaaya Kavuma akubiddwa mu mbuga lwa kwekomya mmaali y’omufu.

Kaaya Kavuma ne Tefiro Kisosonkole bawerennemba mu Kkooti Enkulu y’ensonga z’amaka olw’okwekomya ettaka n’ebizimbe by’omugenzi Stanley Kitaka Kisingiri.

Abamu ku bazzukulu b’omugenzi okuli; Joseph Kiwanuka, Samuel Gitta, Charles Kabenge ne Irene Nabawanuka Kyeyune be baawaabye omusango guno ku nnamba 17/2016.

Stanley Kitaka Kisingiri, omusika wa Zakariya Kizito Kisingiri yafa March 2, 1992, wabula Kaaya Kavuma, Tefiro Kisosonkole n’omugenzi Grace Nalima ne bagenda mu kkooti ne bafuna ebiwandiiko mu 1995 ebibakkiriza okuddukanya ebyobugagga by’omugenzi.

Mu mpaaba gye baatutte mu kkooti nga 11 February 2016, bamulekwa balumiriza Kaaya Kavuma okutunda n’okukyusa ebintu by’omugenzi n’abizza mu mannya ge.

Mulimu ettaka ly’e Munyonyo mu Kampala erya yiika ezisukka mu 4 (Block 255 Kyaddondo), oluvannyuma n’alisalamu poloti kkumi (10).

Ebirala kuliko ettaka n’ebizimbe e Mmengo, ebimu nga yabitunda ate ebirala n’abigabako Liizi awatali kwebuuza ku ba famire y’omugenzi.

Wabula mu kwewozaako kwe, kwe yatadde mu kkooti nga March 10, 2016, Kaaya Kavuma eyayise mu Bannamateeka ba AF Mpanga, Advocates yategeezezza nti abaamugguddeko omusango si baana ba mugenzi Kisingiri era tebamulinaako kakwate konna.

Yannyonnyodde nti ebbanga Kisingiri lye yamala nga mulwadde, yamuwanga ssente z’obujjanjabi ne bakkaanya atwalemu ettaka ly’e Munyonyo.

Yannyonnyodde nti Kisingiri we yafiira mu 1992, yaleka Nnamwandu n’abaana 12 era bonna ebintu bya kitaabwe byabagabanyizibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulambo gwa Paasita Yiga g...

OMULAMBO gwa Paasita Augustine Yiga guggyiddwa mu ggwanika ly'eddwaliro ly'e Nsambya gy'abadde ajjanjabirwa ne...

Enkuba egoyezza ab'e Kyeban...

Obuzibu abatuuze bano babutadde ku bakola oluguudo lwa Northern bypass abaayiwa ettaka mu mikutu egyanditutte amazzi...

Paasita Kyazze

Paasita naye ayogedde ku mu...

Agambye nti Omusumba Yiga abadde muyiiya nnyo, omusanyusa era ayagala ky'akola kyokka bino byonna yandibikoze...

Paasita Ssenyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga atuuzizza...

Ayogedde ku mugenzi nga abadde nabbi ow'obulimba , omukabassanyi w'abakazi era nga waafiiridde abadde awerebye...

Omugenzi Col Shaban Bantariza

Col Bantariza afudde Covid1...

Gavumenti ekakasizza nti omugenzi Col. Shaban Bantariza yafudde kirwadde kya Covid 19.