TOP

Babakutte ne mmotoka enzibe

Added 5th April 2016

Babakutte ne mmotoka enzibe

 Abakwatiddwa ne nnamba puleeti zebajja ku mmotoka zebamaze okubba

Abakwatiddwa ne nnamba puleeti zebajja ku mmotoka zebamaze okubba

POLIISI y'omu Ndeeba ekutte abavubuka babiri ababadde batunda emmotoka enzibe nga basangiddwa batunda emmotoka empya ku bukadde bubiri bwokka.

Bashir Mwanje ne Hamza Muyomba abatuuze b'e Makindye beebakwatiddwa nga batunda emmotoka enzibe ekika kya Toyota Noah UAP 270Q ku bukadde bubiri, bano okukwatibwa baakubidde omusuubuzi w'emmotoka omu e Najjanankumbi nebamutegeeza nga bwebalinayo emmotoka empya ekika kya Toyota Noah gyebatunda ku bukadde bubiri n'ekitunda nti wabula ya "Kaweewo" ekitegeea nti Nzibe olwo naye kwekubategeeza nti agenda kubawa obukadde bubiri ekintu kyebakkiriza.

Bateesezza basisinkane e Nateete ku makaayi kyokka ate nebeekyusa nebamugamba bamusisinkane e Bulenga nga naye wano kwekutemya ku poliisi y'omu Ndeeba nebagenda naye era abavubuka bano nebakwatibwa ku ssande e Bulenga.

Baleeteddwa ku poliisi mu Ndeeba nebategeeza ng'emmotoka eno bwebaagibba e Mukono nga waliwo omugagga waabwe eyabaleetera ebisumuluzo byayo nga bagitadde mu kifo ekimu webooleza emmotoka olwo bbo nebagivuga nebagiddusa nebagiggyako n'ennamba zaayo nebagireeta e Kawempe.

Bategeezezza nti e Kawempe basooka kugiteeka mu paakingi okumala omwezi gumu n'ekitundu okutuuka wiiki ewedde bwebasazeewo okugitunda, olwo kwekunoonyereza ku bantu abagula emmotoka nebafuna oyo ow'e Najjanankumbi nebamukubira essimu.

Bwebabuuziddwa ku bikwata ku nanyini mmotoka eno bagaanye okwogera nga bagamba nti nabo omugagga waabwe yeeyabwa ebisumuluzo bbo tebamanyi nanyini mmotoka kyokka bagaanye okumwogera nebatandika okulimba poliisi nga bwali e Makindye kyokka eno poliisi etuseeyo nga taliiyo.

Atwala poliisi y'omu Ndeeba Abdu Hamidu Kabojja ategeezzeza nti abakwate bagguddwako gwa kutunda mmotoka eteeberezebwa okubera enzibe nga bwebalinda ba nanyini mmotoka okulabika olwo baggulweko ogw'obubbi ku fayiro SD:22/03/04/16

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga n'omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi.

Abaserikale musse ekitiibwa...

SSAABASUMBA w’Essaza Ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye abakuumaddembe okuyisa obulungi Bannayuganda...

Omusomesa ng'akebera omuyizi corona virus.

Minisitule y'ebyenjigiriza ...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ekoze enkyukakyuka mu birina okusomesebwa abayizi ba P7 abazzeeyo ku masomero n’ab’ebibiina...

Zzimula n'embuzi ze.

EMBUZI GYE BAMPA MU MUSOMO ...

ZZIMULA , mutuuze w’e Busega Kibumbiro zooni B mu munisipaali y'e Lubaga mu Kampala. Muluunzi wa mbuzi era yazizimbira...

Aikoru n'abaana baabadde atulugunya.

Abadde asuza abaana mu kaab...

OMUKAZI Juliet Aikoru ow’e Kazo Angola akwatiddwa ng’abadde amaze ebbanga ng’atulugunya abaana ba muggyawe be yalekera...