TOP

Ababaka bayitiddwa bukubirire okuyisa ssente

Added 6th April 2016

PALAMENTI eyitiddwa bukubirire okutuula olwaleero okuyisa ensimbi ez’ennyongereza Gavumenti ze yasabye okusobola okuyita mu emyezi ebiri egibulayo okumalako omwaka ogw’ebeyensimbi oguggwaako mu June 2016.

 Ababaka ba Palamenti nga batudde

Ababaka ba Palamenti nga batudde

PALAMENTI eyitiddwa bukubirire okutuula olwaleero okuyisa ensimbi ez’ennyongereza Gavumenti ze yasabye okusobola okuyita mu emyezi ebiri egibulayo okumalako omwaka ogw’ebeyensimbi oguggwaako mu June 2016.

Gavumenti yasabye Palamenti okuyisa ensimbi obuwumbi 1,041 n’obukadde 13 ze yeetaaga okutambuza emirimu nga bajeti empya tennasomwa.

Kino kitegeeza nti, ensimbi obuwumbi 23,972 Gavumenti ze yaweebwa mu bajeti ya 2015/16 zigiweddeko ng’omwaka tegunnaggwaako, kati yeetaaga ez’ennyongereza obuwumbi 1,041 okuddukanya emirimu.

Ensimbi Gavumenti ze yasabye, kuliko obuwumbi 50 n’obukadde 246 za maka g’Obwapulezidenti, obuwumbi 4 n’obukadde 878 okusasula emisaala gy’abakozi ba Gavumenti, obuwumbi 56 n’obukadde 320 poliisi egule ebyuma by’empuliziganya.

Endala kuliko obuwumbi 22 n’obukadde 800 eza Minisitule eya Gavumenti Ezeebitundu, obuwumbi busatu ezeetagibwa Minisitule ey’Ebyamateeka okusasulira omusango DR Congo gwe yawawaabira Uganda n’endala obuwumbi 14 n’obukadde 902 ez’okuyimirizaawo ebitebe bya Uganda mu mawanga ageebweru bibeere mu mbeera nnungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tumukunde mu lukungaana.

Be baagoba ku ttaka ly'ebib...

MAJ. Gen. Henry Tumukunde asuubizza okuliyirira abantu bonna abaagobwa ku ttaka lye bibira n'okukyusa ebyenjigiriza...

Amuriat ng'ali e Terego.

Poliisi etaasizza Amuriat o...

PATRICK Oboi Amuriat, akwatidde FDC bendera mu kuvuganya ku Bwapulezidenti, amaze essaawa nnamba ng'asobeddwa oluvannyuma...

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...