TOP

Balaajanidde UNRA ebataase ku bubenje

Added 8th April 2016

BANNAMUKONO bakukkulumidde Poliisi n’ekitongole ky’ebyenguudo ekya UNRA okusiba obubenje mu bifo ebitali bimu ku luguudo oluyita mu Mukono okudda e Jinja.

 Poliisi n’abadduukirize nga bayamba omwana eyatomeddwa ku Jobiah Hotel gye buvuddeko.

Poliisi n’abadduukirize nga bayamba omwana eyatomeddwa ku Jobiah Hotel gye buvuddeko.

BANNAMUKONO bakukkulumidde Poliisi n’ekitongole ky’ebyenguudo ekya UNRA okusiba obubenje mu bifo ebitali bimu ku luguudo oluyita mu Mukono okudda e Jinja.

Abatuuze bagamba nti n’oluguudo bwe lubomoka, balwawo okuluddaabiriza nga kino bakirabira ku waabomoka wiiki essatu eziyise emabega wa paaka ya takisi e Mukono, kyokka ng’ebikozesebwa okuddaabirizaawo byakatuusibwawo.

Waliwo n’ebifo ebirala nabyo ebyetaaga kukolwako kyokka tewali avunaanyizibwa yaabinyezeeko wabula nga mususse okugwamu obubenje.

Ebifo bye beemulugunyaako eby’obulabe ennyo mwe muli, ekkoona ly’e Kigunga eriri mu mayiro ng’emu okuva mu kibuga Mukono ng’odda e Kampala, ekkoona ku kkanisa ya Victory Church nga waakava mu kibuga ky’e Seeta, ekkoona ly’oku ssomero lya Sseeta High School ne Paul Mukasa nga waakava e Kigunga, n’ekkoona lye Walusubi ng’ova ku katale k’e Namawojjolo.

Ebimu byetaaga ebyuma ebbali w’ekkubo bitangire emmotoka okugwa mu nkonko ate awamu weetaaga obugulumu n’okugaziyizibwa kuba oluguudo lufunda. Oluguudo era lujjudde ebinnya okuva e Namanve mu ggombolola ye Goma, okutuuka mu Naggojje disitulikiti w’ekoma.

Ebimu ku bifo oluguudo we luwomoggose ennyo kuliko; e Nantabuulirirwa ku klezia, Sseeta ku Kkoobu, e Sseeta ku St. Augustine, e Kawuga ku kidda e Ntaawo, e Kawuga ku siteegi ya Jobiah Hotel awali ebitaba ebifuuse ekiyanja, ku Butebe we batundira ebyemikono, mu maaso ga Poliisi y’e Mukono awali ettaka eryaggibwa mu mifulejje, e Mukono ku ddwaaliro lya gavumenti erya Mukono Health Centre IV n’e Mukono ku siteegi ya Bishop.

Awalala kuliko e Mukono okuliraana essaawa ya Meeya awali ekitaba. 

Avunaanyizibwa ku kulondoola emirimu gya UNRA, Christopher Good, yagambye nti obuzibu bwa UNRA wabula abalukozesa naddala abatikka obubindo, abasimaasima ebbali w’oluguudo luno okuyisaayo waya z’essimu n’emidumu gy’amazzi n’aba takisi abayisaayisa.

Akulira Poliisi y’ebidduka mu disitulikiti ye Mukono, Moses Ssonko yagambye nti ekizibu kiri nti luguudo luno olufunda, olwetaaga okugaziya n’asaba ab’ebidduka okukuuma amateeka okwewala obubenje.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...