TOP

Ssentebe w'e Busunju aziikiddwa mu masasi

Added 9th April 2016

Ssentebe w'e Busunju aziikiddwa mu masasi

 Omulambo gwa ssentebe (mu katono ku kkono) nga bagutadde mu kkubo wakati.

Omulambo gwa ssentebe (mu katono ku kkono) nga bagutadde mu kkubo wakati.

WAABADDEWO akasattiro e Busunju mu disitulikiti y’e Mityana, abatuuze bwe beegugunze ne bateeka emisanvu mu nguudo nga balumiriza poliisi okutta ssentebe w’ekitundu kyabwe gwe yakwata ku nsonga z’obubbi bw’ente wabula n’afiirayo nga tannatwalibwa mu kkooti.

Bino byabaddewo ku Lwokuna mu kuziika Apollo Senfuka, abadde ssentebe w’ekyalo Kibubula mu muluka gw’e Busunju, eyafiiridde mu kaduukulu ka poliisi y’e Mityanai. Ku ssaawa nga 7:00 ezaabadde ez’okusabira omugenzi, abamu ku booluganda baasitudde omulambo ne baguteeka mu kkubo wakati ssaako okugwetolooza ebiti ekyaleetedde okusiba mmotoka ezaabadde zikozesa oluguudo lw’e Hoima.

Kino kyaleetedde poliisi y’e Mityana okutuuka mu kifo kino ng’ekulembeddwa omwogezi wa poliisi mu Wamala Region, Nobert Ochom okukuba mu bakungubazittiyaggaasi n’amasasi okubagumbulula. Wano abakungubazi abaabadde bataamye, baatandise okukasukira poliisi amayinja era atwala poliisi y’e Busunju, Beatrice Kyosiimira n’atumya abaserikale abalala era abaabadde bakasuka amayinja ne babuna emiwabo.

Abamu ku bakungubazi beggalidde mu nnyumba zaabwe ne basinziira omwo okusaba poliisi erekere awo okubakubamu omukka ogubalagala basobole okuziika era kino poliisi yakikkirizza omulambo ne bagutwala mu bitundu by’e Nalukwakkula gye gwaziikiddwa ku ssaawa 11:00 mu kire ky’enkuba.

Ng’abamu bakyali e magombe, abatuuze mu kabuga Busunju wakati bazzeemu okukuba poliisi amayinja poliisi n’eddamu okubakuba omukka era ne Nnamwandu w’omugenzi Jane Namuli yakubiddwa omukka mu maaso.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Wamala Region, Nobert Ochom yategeezezza nti, abakungubazi ekikolwa kye baakoze okuziba ekkubo kikyamu era ekyabadde ekyangu okubagobamu kwe kubakubamu omukka ogubalagala bagumbulukuke.

Yayongedde n’ategeeza nti, omugenzi teyafiira mu kaduukulu ka poliisi wabula yafiira mu ngalo za poliisi era n’agumya abakungubazi nti baakwongera okunoonyereza babamanyise ekituufu. Omugenzi alese abaana abasoba mu 41, abakyala bataano okubadde n’owoolubuto nga bonna babeera Busunju.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Katikkiro, Charles Peter Mayiga ng’aliko by’ayogera ne Emmanuel Katongole mu kusabira Kitaka e Lubaga.

Kabaka atenderezza emirimu ...

SSAABASAJJA Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi atenderezza emirimu egikoleddwa Francis Xavier Kitaka eyafa...

Kyagulanyi ne Kibalama lwe baatongoza ekibiina kya NUP.

Bwino omulala ayiise ku bya...

BWINO omulala ayiise ng’abaali bakulira ekibiina kya NUP okuli eyali Pulezidenti waakyo, Moses Nkonge Kibalama...