
Kaganda agambibwa okufera omusuubuzi ng'ali ku poliisi
POLIISI ekutte omusuubuzi omututumufu ku Kaleerwe ne ddereeva wa loole nga kigambibwa baakolaganye ne kayungirizi ne banyaga omulimi ensawo z’ebijanjaalo za bukadde busatu n'omusobyo .
Akirewo Kaganda omusuubuzi w’ebijanjaalo mu katale ka Bivamuntuuyo ku Kaleerwe ye yakwatiddwa ne Moses Nkalubo poliisi y’oku Kaleerwe ku Lwokuna oluvannyuma lwa Haningiton Baturine 40 omutuuze w’e Isingiro ku kyalo Nyabondo okubaloopa nga bwe baakolaganye ne kayungirizi ne bamubba ensawo z’ebijanjaalo 20.
Baturine yategeezezza nti yavudde mu kyalo n’ebijanjaalo ku mmotoka y’ekika kya Canta UAY 919A n’egeriko ensawo 42 baatukidde ku Kafumbe Mukasa nga tewali katale we yafunidde omusajja nabagamba nti alina omusuubuzi ku Kaleerwe ayitibwa Kaganda agenda okubigula byonna , yagasseeko nti we baatuuse Kaganda n’abawa minzaani ne batandika okupima ng’ensawo gye bamala bagitika ku mmotoka ekika kya Fuso nnamba UAW 135L eyasangiddwawo
Yayongeddeko nti olw’amaze okugissaako ensawo 21 n’esimbula Kaganda n'amukakasa nti y'agenda okusasula kyokka ate oluvannyuma yeefudde n'agaana okusasula ng’agamba nti abaatutte ebijanjaalo talina ky’abamanyiko kino kyawalirizza Batarine okugenda ku Poliisi n'aloopa Kaganda n'akwatibwa ,oluvannyuma batandise okunoonya mmotoka ya Fuso ne bagikwatirwa e Bugoloobi ne balagira ddereeva Nkalubo eyabadde agivuga adde ku Kaleerwe wano eyabadde kayungirizi eyagye Baturine ku Kafumbe Mukasa n'adduka.
Moses Nkalubo yategeezezza nti omusajja yamukimye ku Nkulungo y’oku bbiri wakolera n'amugamba alina ensawo z’ebijanjaalo 20 azimutwalira Nakawa ne bateesa 60,000/ wano tebaasanzewo katale kaabyo n'amugamba beeyongereyo e Mukono eno balina edduuka lye baatuseko ne bajjako ebijanjaalo kyokka bwe baamaze okubitikulako ku mmotoka ate ne balemaganwa ebeeyi ne babizzako namugamba nti agenda ku mwongeramu ssente e Bugoloobi ng’eno gye baabakwatidde .
Kaganda yategeezezza nti abaaleese ebijanjaalo talina ky’abamanyiko yagasseko nti omulimu gw’okusuubula ebijanjaalo agumazemu emyaka 18 naye takwatibwangako poliisi mbu abbye , Kaganda poliisi yamugalidde ne Nkalubo ne bagulwako omusango SD REF:17/14/04/2016.
Robert Luganzi mutabani wa Kaganda yategeezezza nti mu kiseera ababbi we baagidde ye yabaddewo ku dduuka ne bamubuuzza ne bamugamba nti balina ebijanjaalo naye olw’okuba yabadde talina ssente yakubidde Taata we najja ne bakwatagaana ng’ebyaddiridde teyabitegedde yalabidde awo nga poliisi emukwata .