TOP

Dr. Stella Nyanzi eyeeyambudde y'ani?

Added 19th April 2016

Biibino ebikwata ku musomesa w'e Makerere, Dr. Stella Nyanzi eyeeyambudde ne bamuzza mu mulimu.

 Dr. Stella Nyanzi ng'ayogera n'abaamawulire oluvannyuma lw'okweyambula

Dr. Stella Nyanzi ng'ayogera n'abaamawulire oluvannyuma lw'okweyambula

Dr. Stellah Nyanzi agamba nti okweyambula yakikoze okuwakanya ebikolwa bya Polof. Mahmood Mamdani okumuggalira ofiisi ye ng’amulanga okugaana okusomesa, ekintu ye (Stellah) ky’agamba nti kikyamu kubanga endagaano ye erimu kunoonyereza so ssi kusomesa era byonna ebikolebwa bya kumunyigiriza.

Biibino ebikwata ku musomesa w'e Makerere, Dr. Stella Nyanzi eyeeyambudde ne bamuzza mu mulimu.

  • Yasomera Gayaza High School gye yava okugenda e Makerere.
  • 1993 – 1996 Yasoma diguli esooka mu mawulire e Makerere.
  • 1999 – 2000 yasoma diguli eyookubiri mu University Of London mu kunoonyereza ku byobulamu era yanoonyereza ku kuwonyezebwa kw’obulwadde bwa mukenenya okw’ebyewuunyo mu Balokole.
  • 2001 – 2001 yasoma diguli mu byenkulaakulana n’ebyenfuna mu yunivasite e Nkumba. Yanoonyereza ku ddembe ly’abakyala mu by’omukwano n’engeri gye kibatumbudde.
  • 2003 – 2008 yagenda mu University Of London n’asoma diguli eyookusatu (PhD), yakola okunoonyereza ku ddembe ly’abaana abatanneetuuka n’engeri gye lityoboolwamu mu by’omukwano mu Gambia, eby’omukwano n’okwegatta, ebyobulamu mu kuzaala.
  • Akolera ku Makerere Institute of Social Research (MISR) naye ng’akoze okunoonyereza okw’enjawulo naddala ku byekuusa ku by’omukwano, obulwadde bwa mukenenya n’abali mu nkambi z’ababundabunda.

ABAKAZI ABALALA ABAZZE BEEYAMBULA:

  • March 3, 2016 Mukyala Balinda muka Joseph Balinda eyali yeesimbyewo ku bwakansala e Bukesa yeeyambula bwe baatuuka e Lugogo abakulira ebyokulonda ne balangiriramu Hakim Kashanire.
  • October 2015, Fatuma Naigaga yeeyambulamu engoye zonna oluvannyuma lwa poliisi okumutulugunya ng’emukwata wabula poliisi yalumiriza nti ye yeeyambudde.
  • April 2012 abakazi ba 4GC Happy Twinomugisha ne Babra Alimadi beeyambulira ku CPS mu Kampala nga bagirumiriza okutigaatiga Ingrid Turinawe amabeere n’okumwambula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu