TOP

Ekidyeri ky'e Buvuma ganyegenya!

Added 21st April 2016

Abakulembeze mu bizinga by’e Buvuma balabudde ku kidyeri ekisaabaza abantu n’ebyamaguzi ekifuuse ganyegenya.

 Abantu n’ebyamaguzi nga bagoba ku mwalo.

Abantu n’ebyamaguzi nga bagoba ku mwalo.


Abakulembeze mu bizinga by’e Buvuma balabudde ku kidyeri ekisaabaza abantu n’ebyamaguzi ekifuuse ganyegenya.

Bagamba nti ekidyeri kino bwe batakiggya ku nnyanja mu bwangu kikyayinza okuyiwa abantu n’ebyamaguzi mu nnyanja, akabenje akayinza okufiiramu abantu abangi, n’okufiirwa ebyamaguzi.

Abakulembeze abali mu bweraliikirivu kuliko; ssentebe wa disitulikiti y’e Buvuma Adrian Wasswa Ddungu n’omubaka wa Palamenti, Robert Migadde Ndugwa nga bagamba nti ekidyeri kikaddiye ng’abantu abakitambuliramu bazze basimattuka akabenje enfunda eziwerako.

Bagamba nti baategeezezza aba UNRA kyokka nga tebannafuna kuyambibwa. Ekidyeri ekyogerwaako kiri wansi w’ekitongole kya UNRA nga y’entambula yokka ey’olukale esaabaza abantu okuva ku mwalo e Nakawuma mu disitulikiti y’e Buikwe okubatwala ku mwalo e Kirongo mu disitulikiti y’e Buvuma.

“Mu mwezi oguwedde ekidyeri kino kyafa nga kinaatera okutuuka e Nakawuma abaaliko ne balaajana n’abamu ne balaama nga balaba obwabwe bukomye!

Obwato bw’abavubi bwe bwasomba abantu okuva ku kidyeri kino ne bubagobya ku lukalu,” Migadde bwe yagambye.

Migadde yagasseeko nti gye buvuddeko nga naye kennyini kw’ali e kidyeri kyayabulukukamu ebitundu bibiri ne basimattuka.

Abakulembeze mu bizinga by’e Buvuma balabudde ku kidyeri ekisaabaza abantu n’ebyamaguzi ekifuuse ganyegenya. Bagamba nti ekidyeri kino bwe batakiggya ku nnyanja mu bwangu kikyayinza okuyiwa abantu n’ebyamaguzi mu nnyanja, akabenje akayinza okufiiramu abantu abangi, n’okufiirwa ebyamaguzi. Abakulembeze abali mu bweraliikirivu kuliko; ssentebe wa disitulikiti y’e Buvuma Adrian Wasswa Ddungu n’omubaka wa Palamenti, Robert Migadde Ndugwa nga bagamba nti ekidyeri kikaddiye ng’abantu abakitambuliramu bazze basimattuka akabenje enfunda eziwerako. Bagamba nti baategeezezza aba UNRA kyokka nga tebannafuna kuyambibwa. Ekidyeri ekyogerwaako kiri wansi w’ekitongole kya UNRA nga y’entambula yokka ey’olukale esaabaza abantu okuva ku mwalo e Nakawuma mu disitulikiti y’e Buikwe okubatwala ku mwalo e Kirongo mu disitulikiti y’e Buvuma. “Mu mwezi oguwedde ekidyeri kino kyafa nga kinaatera okutuuka e Nakawuma abaaliko ne balaajana n’abamu ne balaama nga balaba obwabwe bukomye! Obwato bw’abavubi bwe bwasomba abantu okuva ku kidyeri kino ne bubagobya ku lukalu,” Migadde bwe yagambye. Migadde yagasseeko nti gye buvuddeko nga naye kennyini kw’ali e kidyeri kyayabulukukamu ebitundu bibiri ne basimattuka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Harold Kaija

Omukunzi wa FDC attiddwa mu...

AKULIRA okukunga abantu mu kibiina kya FDC mu disitulikiti y'e Lyantonde bamusse ne kireka ebibuuzo ku bigendererwa...

Minisita Namugwanya (mu kyenvu) n’omubaka Hussein (ku kkono) n’abamu ku bakulembeze abaalondeddwa.

Gavt. erondesezza akakiiko ...

GAVUMENTI erondesezza akakiiko ak'ekiseera ka bantu bataano mu St. Balikuddembe kagiyambeko okuddukanya akatale...

Amaka ga Kasango (mu katono) e Butabika mu munisipaali y’e Nakawa.

Obukama bwa Tooro buyingidd...

OLUVANNYUMA lwa ffamire okulemererwa okutuuka ku kukkaanya ku by'okuziika munnamateeka Bob Kasango eyafiira mu...

Florence Nabakooza bba Shafique Wangoli yakwatiddwa ng’ali lubuto.

Abaabulwako abaabwe olukala...

ABANTU abaabulwako abaabwe tebamatidde n'olukalala minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odong lwe yayajulidde...

Ku kkono; Hope Kitwiine, Mildref Tuhaise, Mercy Kainobwisho, Patience Rubagumya, Connie Kekihembo, Agnes Nandutu ne Irene Irumba.

Abakyala balaze ebirungi by...

ABAKYALA abali mu bifo by'obukulembeze mu by'obusuubuzi balaze okusomoozebwa abakazi kwe bayiseemu olwa corona...