
ABASERIKALE b’amakkomera beemulugunyizza ku musaala omutono gwe bafuna era ne basaba nabo bakikirirwe mu palamenti.
Omuduumizi w’ekitongole ky’amakomera ekikola ku basibe abasaalirwa ogw’okufa Bob Onapo ye yakoze okwemulugunya n’okusaba kuno bwe yabadde ayogera eri ababaka ba palamenti ku kakiiko k’ebyamatteeka akaagenzeeyo.
"saagala kwogera ku bungi bwa musaala gwa mubaka wa palamenti. Naye ffe (abaserikale b’amakkomera) tufuna ssente ntono.
Wano wendi ku nyota ze nina siweza na kakadde. Omuduumizi w’amakkomera (Dr. Johnson Byabasaija) agezaako okutulwanirira nay kiri bubi. Tetulina na mukiise mu palamenti…’’ Onapo bwe yalajjanye.
Yagambye nti enkuubo eziyitibwamu kkomera ziri mu mbeera mbi ng’ekuba bw’etonnya ezimu zijjerebera amazzi.
Ate akulira ekkomera lya Upper Prison Wilson Magomu yagambye nti fayiro z’abasibe abamu naddala abasingibwa emisango mu kkooti z’amagye tezirabikako ekizibuwaza okukola ku misango gyabwe. Yagambye nti fayiro nga 23 tezirabikako.
Kyokka n’agamba nti abasibe abasing balina empisa era beeyimbira ennyimba ez’okusinza Katonda nga n’abamu bali mu kusoma wakati wa pulayimale, siniya ne yinuvasite. Eyakulidde ababaka Steven Tashobya yagambye nti mu waliwo akakiiko akagenda okussibwawo okukyusa Konsitutyusoni ya Uganda era bwe katuukirirwa kayinza okutunuulira eky’abaserikale b’amakkomera okukikirirwa.
N’agamba nti abaserikale okusasulwa obubi nakyo kisobola okutunulwamu singa wanassibwawo ekitongole ekivunaanyizibwa ku kugereka emisaala gy’abakozi ba gavumenti. Era n’asaba abakulira ekkomera e Luzira okuwandiika olukalala lw’abasibe abalina fayiro ezabula balondoolwe.