TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasima entaana ne babbamu obuwanga basattiza ekyalo

Abasima entaana ne babbamu obuwanga basattiza ekyalo

Added 24th April 2016

Abasima entaana ne babbamu obuwanga basattiza ekyalo

 Nannyondo ng’asonze ku kituli we baayisizza akawanga ka bba

Nannyondo ng’asonze ku kituli we baayisizza akawanga ka bba

ABATUUZE b’e Kyabadaaza mu Butambala bali mu kusattira olw’abantu abasima entaana ne babbamu obuwanga nga n’abafu abaakamala okuziikibwa tebabataliza.

Baasimye ebiggya bya nnamwandu Teopista Nnyondo 76, omutuuze w’e Kabuye mu ggombolola y’e Budde ne batwala obuwanga bw’abafu munaana ekyaleetedde abatuuze okulowooza nti bandiba abasamize.

Abasima amalaalo baasokera ku kiggya ky’omugenzi Efulayimu Kiziri eyali bba wa Nannyondo eyaziikibwa mu 2008 ne baggyayo kkeesi n’engoye mwe baamuziika ne babissa ku ngulu ne batwala akawanga ke.

Bwe baamaze ne baziikula obuwangwa bw’abaana abato musanvu ne bagenda nabwo. Kino kyatadde abatuuze ku bunkenke ne Nnamwandu Nannyondo n’asattira nga n’awaka atya okubeerawo ng’alowooza nti abaasimye entaana bayinza okudda ne bamutwala nga mulamu.

Abatuuze nga bali n’akulira poliisi y’e Butambala Musa Kayongo baakoze ekikwekweto nga bafuuza abasawo b’ekinnansi be basonzeemu olunwe okubeera emabega w’ekikolwa kino. Baakutte ssentebe w’abasawo b’ekinnansi Muhamad Budde Kabuye olw’okuwa Donoziyo Ssekitoleko ne Lawrence Sseruwale ebiwandiiko ebibakkiriza okukola obusawo nga bya bicupuli ne babaggalira.

Mu kiseera kino abatuuuze bali mu kutya nga bagamba nti tebamanyi kigenderwa ky’abantu bano era basaba poliisi efuuze buli ssabo mu kitundu bazuule alina obuwanga bw’abantu abaaziikuddwa Kayongo yagambye nti ebikwekweto bikyagenda mu maaso eraabaakwatiddwa okuli Ssekitooleko ne Sseruwale bagguddwaako omusango gw’okwefuula abasawo.

Ssentebe w’abasawo Kabuye yagguddwaako ogw’okugaba layisinsi ez’ebicupuli Abaakwatiddwa bakuumirwa ku poliisi y’e Kibibi nga bwe balindirira okubatwala mu kkooti bavunaanibwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...