TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'Emakindye baagala Kampala ayongere okukutulwamu

Ab'Emakindye baagala Kampala ayongere okukutulwamu

Added 25th April 2016

Ab'Emakindye baagala Kampala ayongere okukutulwamu

ABATUUZE  n’abakulembeze okuva mu munisipali y’e Makindye  baabaze  ekiwandiiko nga batwala ssabawoleereza wa  gavumenti  mu kkooti  etaputa ssemateeka nga baagala gavumenti eyongere okusalaasala konsituwensi enddala 21 mu Kampala ziwere 30 olw’obungi bw’abantu abalimu n’omubaka omukyala owa Kampala Nabira Nagayi aleeme kugobwa.

Abatuuze bano 100 nga bakulembeddwamu ssentebe wa NRM mu ggombolola y’e Makindye East A, ng’era ye ssentebe wa LC 1,  e Muyenga Hill Yasin Omari ne kansala D. Mahooro bagamba nti okusinziira ku nnamba y’abantu abali mu Kampala bokka basukka mu bukadde 3,000,000. ng’abalonzi bokka baali 1,900,000.

“Mu kukulemberwa obulungi buli batuuze emitwalo kkuumi balina okubeera nga bakikkirirwa omubaka mu palamenti n’ensonga eno Kampala yokka yetaaga ababaka 30 nga ku bano tulinako 9 mu kiseera kino era ng’abalala 21 balina okulondebwa “ Bwatyo Omari bweyategeezezza.

Omari okwogera bino abatuuze bano abatwala ekiwandiiko kyabwe mu kkooti ya ssemateeka babadde ku Muyenga Resort Hotel e ggulo nga bamaliriza okwekenenya ekiwadiiko kyabwe kye  bagenda okutwala mu kkooti ya ssemateeka ebeko byekyusamu n’okulongoosa nemu  tteeka lya KCCA erifuga ekibuga.

Bagambye nti kye kiseera munisipaliti za Kampla ettaano okufuka kati buli emu disitulikiti ey’etongodde nga buli emu ekikkirirwa ababaka mukaaga okuli  n’omubaka omukyala awamu ababaka ba Kampala bonna babeere 30 olw’obukulu bwe kibuga.

Omari yagambye nti ababaka ababadde bamaze okulondebwa babaleeke mu palamenti buli omu asigale mu kitundu gyava gy’aba akikkirira kubanga bamala dda okuwangula ne gavumeni n’etteekamu ssente zaayo.

Ku kyaky’omusala yagambye nti gavumenti yaffe mu kiseeera kino erina ssente nnyingi ezigenda okuva mu mafuta oba bwe kinagaana ababadde mu palamenti banagabaana n’abapya omusaala ekirungi bafuna munenne.

Kansala Muhooro yagambye nti ba meeya nabo buli munisipaliti bwefukka disitulikiti eveeyo babbiri awamu mu Kampala yonna babeere ba meeya 10,  kino kyongere okwongera ku bantu okufuna emirimu olwo bakansala Kampala yonna mubeeremu 600.

Ku kyaba ssentebe ba LC 1 mu ggwanga yasabye bagyewo erinnya LC  balituume “Country Policing Council”  [CPC] nga ziriwo mu mateeka bongere okusomesa Bannayuganda obukulu n’okwagala eggwanga lyabwe .

“Kino kye kiseera Bannayuganda okumanya amakulu g’okwagala eggwanga lyabwe kubanga tugenda kutandiika okuzimba omuduumu gw’amafuta gwe twetaaga okukuuma obutiribiri  miita ku miita okusobola okulemesa abatujju okugwokya” bwatyo Omari bweyagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...