TOP

Abbye omwana ku mulamu we n'amugabira omusajja; amubatizza

Added 6th May 2016

Poliisi yamukwatidde Mmende mu ggombolola y’e Kakiri ng’ali mu ddya ewa Edward Ssemakula nga bamaze n’okumubatiza. Abadde afumba mu malya ana (4).

 Tracy n’omwana we eyazuuliddwa. Ku ddyo ye Nakyanzi

Tracy n’omwana we eyazuuliddwa. Ku ddyo ye Nakyanzi

OMUKAZI eyabba omwana ku mulamu we n’amulimba nti jjajjaawe y’amutumizza mu kyalo, poliisi y’e Kiwaatule emukwatidde mu ddya gye yamugaba.

Aisha Nakyanzi ng’abamu bamumanyi nga Justine 25, y’agambibwa okubba omwana, Gidel Katongole ow’emyaka ebiri ku mulamu we, Tracy Katongole ow’e Kiwaatule.

Poliisi yamukwatidde Mmende mu ggombolola y’e Kakiri ng’ali mu ddya ewa Edward Ssemakula nga bamaze n’okumubatiza. Abadde afumba mu malya ana (4).

MAAMA W’OMWANA AYOGEDDE

Tracy Katongole agamba nti nga April 2, 2015, Nakyanzi yasooka kujja n’amugamba nti jjajja w’omwana amutumizza amulabeko, olwamumumma n’addayo n’afuna omukazi eyamukubira essimu ng’ayogerera ddala nga nnyazaala we n’amugamba nti, ‘muwala onnyimye omwana ddala andabeko!’

Namugamba nga bwe sinnagaana mwana kuleetebwa era waayita essaawa 4 nnalabira awo nga Nakyanzi azze okumunona ne mmumuwa.  

Yaηηamba nti agenda kumalayo ennaku bbiri zokka, bwe zaayitawo ne nninda nga simulaba. Ku lunaku olwokusatu kwe kukubira nnyazaala wange essimu bampeereze omwana n’agamba nti ye tansabanga ku mwana era tamanyi gy’ali ne binsobera.

“Nakubira taata w’omwana, Godfrey Katongole eyali agenze ssafaali essimu ne mmutegeeza nga mwannyina bwe yannyagako omwana n’akomawo ne tumunoonya mu baganzi be be yali asinga okwogerako ne tubulwa.

Nasalawo ensonga kuzikwasa poliisi y’e Kiwaatule n’etandika omuyiggo ng’eyita mu basajja   b’agenda aganza okutuusa lwe yakwatiddwa era kyatwewuunyisizza ng’abasajja abo buli omu abadde   amanyi munne.

Abadde abeera mu bifo eby’enjawulo nga Kawempe, Mmende, Matugga, Masuuliita ne Kajjansi nga yonna alinayo abasajja  

OWOOLUGANDA LWE OMULALA GWE AMULUMIRIZZA

Christine Nabakooza yali amubbidde omwana. “Bwe yajja okunzijanjaba mu ddwaaliro e bbebi wa mwezi ebiri, yali yeeyita Justine Nakyanzi n’akubira bba gwe yayita Mutebi nti baamulongoosezzaamu omwana omulenzi.

Waayita ennaku ntono n’atandika okunsaba omwana wange, Innocent Mayega atambulemu naye ne ηηaana oluvannyuma lw’okuwulira essimu gye yakuba.  

POLIISI BY’EGAMBA

Akulira poliisi y’e Kiwaatule, Mayanja agamba nti; Twasookedde wa bba eyeeyita Ssolido ng’ono twamuggye Masuuliita mu ggeto gye banywera enjaga, era ne tumukwata ne tumusiba n’atulagirira ewa musajja munne Ssekidde e Matugga.

Wano twatuuseewo nga taliiwo wabula ne tukozesa ebifaananyi by’omuwala nga bamumanyi naye nga yeeyita Aisha Nakitto nayo teyabaddewo.

Aba bodaboda mu kitundu baatututte e Mmende gy’abeera era twamusanze mu ddya ewa bba omulala, Edward Ssekamatte nga n’omwana baamubatizza mu mannya ga Joseph Sseddu ku kkanisa ya St. Joseph e Mmende kwe kumukwata.

Yagguddwaako emisango okuli ogw’okubba omwana n’okumubuzaawo ku SD:18/29/04/2016.  

NAKYANZI BY’AGAMBA

Nakyanzi asabye poliisi ne mulamu we bamusonyiwe kubanga yali alimbye omusajja nti ali lubuto kwe kubba omwana amumutwalire era abadde waakumukomyawo amangu ddala nga bamaze okumubatiza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...