TOP

Loole etomedde takisi omuli n'abayizi abawummudde

Added 13th May 2016

Abantu bano abaatuusiddwaako ebisago abamu ne bamenyeka amagulu, baabadde mu takisi nnamba UAP 885F nga bava Kampala nga bagenda Kayunga, mmotoka ya kkampuni ya SBI eyabadde esomba amayinja, nnamba UAV 663N bwe yabatomeredde e Namaliri mu ssaza ly’e Nakifuma mu disitulikiti y’e Mukono ku Lwokusatu.

 Mukisa yakoseddwa nnyo ku mutwe.

Mukisa yakoseddwa nnyo ku mutwe.

Bya AMON MUKASA

ABANTU 14 batwaliddwa mu ddwaaliro nga bali mu mbeera mbi takisi mwe babadde bw’etomeddwa ekimotoka ekikola oluguudo oluva e Nakifuma okugenda e Kayunga.

Abantu bano abaatuusiddwaako ebisago abamu ne bamenyeka amagulu, baabadde mu takisi nnamba UAP 885F nga bava Kampala nga bagenda Kayunga, mmotoka ya kkampuni ya SBI eyabadde esomba amayinja,nnamba UAV 663N bwe yabatomeredde e Namaliri mu ssaza ly’e Nakifuma mu disitulikiti y’e Mukono ku Lwokusatu.

Takisi yafufunyadde yonna.

 

Akabenje kano kaddiridde omukozi wa kkampuni ya SBI ekola oluguudo okuyimiriza mmotoka eziva ku ludda olumu olwa gguleeda ezaabadde zikola oluguudo okuba mu maaso, kyokka ddereeva wa takisi bw’ayimiridde olwo kiroole ekibadde ku misinde ne kiremerera omugoba waakyo ne kiyingira takisi ne kigigoya emabega yonna n’efufunyala.

Ronald Sekyanzi, omu ku baalumiziddwa era nga mmotoka yamuleeseeko olubale, yategeezezza nti yabadde atudde wakati kyokka oluvannyuma lw’omuwala awuuba akatambaala okubayimirizza ddereeva waabwe yalemedde mu luguudo mu kifo ky’okudda ebbali. Wano owa kiroole we yajjidde nga tasibyemu n’abasaabala. Bonna abaabadde batudde emabega baamenyese amagulu n’okufuna ebisago eby’amaanyi ku mutwe.

Abaalumiziddwa kwabaddeko abalongo, Anne Babirye ne Henry Kato abasoma P5 mu St. Francis Educational Centre Namawojjolo ne munnaabwe Innocent Sembatya naye owa P5 abaawummudde.

Omu ku baamenyese amagulu ng’aweebwa obujjanjabi.

 

Abalala kuliko: Isaac Mukisa (7) ow’e Kireka ng’ono emutemyetemye omutwe, Juliet Kisakye (29) ow’e Seeta- Mukono, Prossy Namubiru (29), Ann Jibwa Karani (36) nga bano b’e Kasawo, Margaret Mukebezi (32) ow’e Kaziba, Ronald Sekyanzi (32) ow’e Mpererwe, Kaye Siraf (32) ow’e Kabimbiri, nga bonna bali mu ddwaaliro ly’e Naggalama.

Akulira Poliisi y’ebidduka e Naggalama, Boaz Arinaitwe yategeezezza nti akabenje kaavudde ku mugoba w’ekimotoka ekikola oluguudo okuvugisa ekimama ng’akimanyi bulungi nti bali mu kuddaabiriza luguudo n’alabula abalala okulweyambisa nga bakimanyi nti lukolebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyabbye enkoko bamukubye mi...

Abatuuze baamukubye emiggo wabula nga bw’alaajana ng’agamba nga bw’atali mubbi ng’enkoko baagimuwadde buwi.

Bannakawempe mukolere okweg...

MINISITA omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi akubirizza BannaKawempe ne Kampala Central obuteemalira...

Aba NRM balidde mu kalulu k...

E Mpigi embiranye ebadde ku kifo kya Ssentebe w’abavubuka wakati wa munna NRM, Manisoor Muluya ne Ronald Kaleebu...

Ssekandi nga y'akamala okwewandiisa.

Abavuganya Ssekandi baagala...

ABAVUGANYA omumyuka wa Pulezidenti bamutaddeko amaanyi okumusuuza ekifo ky’omubaka wa Palamenti e Masaka. Kigambibwa...

Akatale k'e Wandegeya nga bwe kafaanana.

Abasuubuzi b'e Wandegeya be...

ABASUUBUZI mu katale k’e Wandegeya bagambye nga bwe bagudde mu lukwe lwa ssentebe waabwe, Jonathan Gitta okwagala...