TOP

Asibidde mukazi we mu nju n'ayanjulwa omupya

Added 17th May 2016

MUKIIBI yabadde yaakayingizibwa mu nnyumba okuzaalibwa ne bamukuba akaama nti, “Owaaye, ebweru giwunye!

MUKIIBI yabadde yaakayingizibwa mu nnyumba okuzaalibwa ne bamukuba akaama nti, “Owaaye, ebweru giwunye!

Maama w’abaana aleese poliisi!” Ssemaka ono mu kugenda okwanjulwa omukazi omulala yabadde mugumu nga yeekakasa nti teri alondoola kubanga mukaziwe gw’amaze naye emyaka 12 yabadde alese amusibidde mu nnyumba!

Gamumyuse nga bamutegeezezza nti, mukaziwe gwe yalese e Ndejje, azze akaalakaala ne poliisi e Kyengera awaabadde emikolo gy’okwanjula.

Henry Mukiibi 45, alina amaka e Ndejje mu Makindye Ssaabagabo yalemedde mu nnyumba y’abazadde b’omukazi omupya Agnes Najjuuko okwetegula akacankalano akaabadde kaleeteddwa mukyala mukulu Justine Nansubuga.

Mukiibi amaze ne Nansubuga emyaka 12 nga bali mu bufumbo obutali butongole mu mateeka era ng’amulinamu abaana 4. Mukiibi ne Najjuuko 34, bamaze emyaka esatu nga bali mu mukwano ogw’enkukutu okutuusa omusajja lwe yasazeewo ayanjulwe mu bazadde ba Najjuuko.

Omukolo gw’okwanjula gwategekeddwa mu maka ga Ssaalongo Emmanuel Kalema (taata wa Najjuuko) ku kyalo Mugongo Kyengera mu ggombolola y’e Nsangi mu disitulikiti y’e Wakiso.

Abako baatuse ku ssaawa 10:30 ez’olweggulo ne baanirizibwa bulungi era emikolo ne gitandika mu kitiibwa.

Baabasasuzizza engassi olw’okukeerewa kubanga baabadde babasuubira ku ssaawa 6:00 ez’emisana.

Okukeerewa kwabadde kubayambye kubanga omwogezi buli kimu obwedda akiyisa mu bwangu nga yeekwasa obufunda bw’akadde; kyokka emikolo nga gituuse we ginyumira, ate ne bafuna ekizibu!

Ng’abazadde baakamala okukkiriza okuzaala Mukiibi, ate mukyala mukulu we yatuukidde, ng’essaawa ziyingidde 1:00 ey’ekiro.

Nansubuga yabadde ayambadde empale y’ekisajja empanvu n’akajoozi wabula ng’akutte akagatto k’akakondo mu ngalo.

Yatuuse aleekanira waggulu nga bw’alangira Mukiibi obubbi n’obujoozi. Obwedda addihhana ebigambo nti: Mukiibi, togenda kunziba ssente zange ozanjulemu omukazi omulala!

Yatuukidde mu weema omwabadde abako era abamu ne babuna emiwabo kubanga yazze agaludde akagatto.

Yamazemaze Mukiibi nga tamulaba olwo n’atandika okwetegereza abamu ku mikwano gya bba b’amanyi obulungi.

Yatandise okwogera linnya ku linnya kw’abo b’abadde amanyi obulungi nga bw’ababuuza nti, “Yii, naawe munnange wanvuddemu….?” Ebyo obwedda abyogera amaziga bwe gamuyitamu.

Mu kiseera ekyo abaabadde ebweru baasaayiridde okutegeeza ab’omu nnyumba nti ebweru bitabuse era abaabadde munda ne basirikira mu nnyumba.

Abaabadde mu kidaala baatabukidde poliisi olw’okuyingira mu nsonga z’amaka eziteetaagisa baserikale, kyokka ne babannyonnyola nti babadde bazze kukwata musajja gwe bagguddeko omusango gw’okutulugunya omukazi kyokka nga tebamanyi nti gwe bazze okukwata ali mu kwanjulwa.

Aba poliisi abazze okukwata Mukiibi b’ayogeddemu n’aba poliisi abaabadde bakuuma omukolo ne kisalwawo Mukiibi yeeyanjule ng’emikolo gimaze kuggwa era ne bakwata Nansubuga eyabadde atandise okukola effujjo ne bamuggyawo nga bwe bamuwooyawooya.

Nansubuga Kwizera ng’aboyaana.

 

Nansubuga yagambye nti poliisi yamukoze bubi okuleka emikolo egyo okugenda mu maaso ate nga n’omusajja yamaze kumuggyako ssente akakadde kamu mu lukujjukujju ate ng’ogwo nagwo musango mulala ogwegatta ku gw’okumutulugunya n’amusibira ne mu nnyumba.

Baliraanwa nti be baamuyambye okumuggulira era abamu ku bbo ne bamutemyako nti omusajja yabadde agenze kwanjulwa mukazi mulala.

SSENGA OW’ENSONGA TEYAMANYA NTI OMUSAJJA MUFUMBO:

Benna Zalwango eyanaanise Mukiibi ekimuli yagambye nti: Nneewuunyizza byonna ebibaddewo kubanga mbadde sikimanyiiko nti omuko alinayo omukazi omulala.

Buli kimu ekikoleddwa nakiyisa mu mitendera emitongole, mukoddomi wange yajja n’akyala mu maka gange e Kalungu Masaka gyembeera.

Mu bye twayogera mu kukyala nnamubuuza oba alina omukazi n’ahhamba talina mukyala ne mmanya ebimukwatako ebirala nga tewali kimulobera kutwala muwala wange.

Kw’olwo era lwe yatutegeereza olunaku olw’okwanjula.

Yali agambye agenda kudda okwanjulwa nga 12 wabula olunaku lwakyuka nga famire ye erinako olumbe kwe kusalawo okukola omukolo nga 15 era bwe kyabadde.

Nayongera okubuuza muwala wange ebikwata ku musajja era naye n’antegeeza nti talina mukazi wabula alinayo abaana bana era n’antegeeza nti abo yali abamanyi nga takirinaako buzibu ne hhamba kale.

Teyakoma okwo yahhamba nti yali yasisinkanako dda ne maama azaala omuko era nga naye yamutegeeza nti ayagala afumbirwe mutabani we kubanga talina mukyala naye bino ebyatutuuseeko sibitegeera.

Bukedde yayogedde ne Mukiibi ku ssimu era mu bukambwe yategeezezza nti: Ssirina kye hhenda kwogera mu mawulire kubanga tewali kye mugenda kunsalirawo kuba temuli kkooti nti mugenda kunsalira musango.

Oyo omukazi bw’aba ayagala agende mu kkooti awaabe omusango okusinga okukozesa obukodyo obw’okucankalanya. Nze aneesonyiwe nga nange bwe nnamwesonyiwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Kizito Lwanga (ku ddyo) Omusumba Kakooza ne Ssekamanya ( ku kkono) nga baganzika ekimuli ku kifaananyi  ky'omugenzi mu Lutikko e Lubaga.

Paapa akungubagidde Omusumb...

PAAPA Francis akungubagidde Bishop John Baptist Kaggwa n'amwogerako nga munnaddiini abadde tasangika. Paapa yagambye...

Tumukunde (ku ddyo) ng’agezaako okuyita ku baserikale. Oluvannyuma baamugaAnye okweyongerayo ewa Kyagulanyi.

Tumukunde bamugobye ewa Bob...

EGGULO ku Lwokutaano, Omubaka Robert Kyagulanyi Sentamu yabadde ategese okwogera eri eggwanga. Naye ng'ebyo tebinnabaawo,...

Titus Ssematimba eyateebedde Buddu (mu ddyo) ng’atwala omupiira ku muzannyi wa Bulemeezi.

Abaamasaza batolotoomye lwa...

Fayinolo y'Amasaza Gomba - Buddu Egyazannyiddwa ku semi; Busiro 0(4)-0(5) Gomba Bulemeezi 0-1 Buddu OBWAKABAKA...

Bobosi omuzannyi w'omupiira.

'Kye kiseera okwesiga Bobos...

"EKYASINZE okunsanyusa kwe kulaba nga mutabani wange Bobosi Byaruhanga ali ku katebe ka ttiimu y'eggwanga ey'abakulu....

Omusumba Joseph Tumusiime owa The heaven's gate Church of All Nations

Wuuno nnabbi eyalagula Trum...

Omusumba owa The heaven's gate Church of All Nationa avuddeyo n'akakasa okulagula kwe ku eyabadde omukulembeze...