TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poiliisi egobaganye n'abamenyi b'amateeka e Kagugube

Poiliisi egobaganye n'abamenyi b'amateeka e Kagugube

Added 18th May 2016

Poiliisi egobaganye n'abamenyi b'amateeka e Kagugube

ABANTU baabulijjo mu muluka gwa Kagugube beegasse ku poliisi n'ebakola ekikwekweto n'ebakwata ab'amenyi b'amateeka okw'abaadde n'abakifeesi .

Poliisi ya  Kagugube eddumirwa Dan Ampadde , Lonah Kamugisha addumira poliisi y'omu Kimwanyi mu Katanga  ne ba   Crime Preventer  baakoze ekikwekweto  okunoonya abamenyi b'amateeka mu muluka gwa Kagugube ng'eno abasirikale baagobaganye n'abayaaye okukakkana nga bagudde mu myala  nga bakwata abavubuka bano.

Kagugube gwe gumu ku muluka oguli mu Kampala Central ogugambibwa okubaamu abamenyi b'amateeka ab'omutawaana  nga buli zooni mu muluka guno erimu enfo mwe basinziira okubba abantu.

 Zooni ezigambibwa okubeera ez'omutawaana kuliko  Kitamanyangamba , LDC , National Housing , Kivulu I, Kivulu ii , Industrial  Area, Kagugube  wabula wakati mu Kikwekweto abamu ku batuuze baavudde mu mbeera ne beeyunga ku poliisi ne batandika okugiragirira awali abayaaye .

Oluvannyuma abatuuze okw'abadde ne bamakanika ate baatandise okukuba abakwatiddwa nga bwe bagamba nti bakooye okubabba nga kino kyaviriddeko abasirikale okubatangira obutatwalira mateeka mungalo.

Abaakwatiddwa baasangiddwa n'ebisi  Ssaako ,ssente z'ebicupuli , Ali  Tembo , Andrew Bukenya , Innocent Mbaziira, Amos Nyamuza , Dagalaus Ssebaggala , Kiyingi Mbabaali, Brian Ssekandi ng'ono yeyita Jjajja nga bano abamu baalwanaganye n'abasirikale era okukakkana nga bagudde mu myala.

Dan Ampadde atwala poliisi eno yategeezezza nti waliwo ekibinja ky'abavubuka abali mu Kifeesi abaddukidde mu Kagugube ng'era abamu bakwatiddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa , yagasseeko nti si buli eyakwatiddwa nti mukyamu naye agenda kuyita abatuuze  bakole okusunsulamu n'asaba okukolagana ne Poliisi okulwanyisa obumenyi bw'amateeka mu kitundu kyabwe .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...