TOP

Olumubikidde muzzukulu we naye n'akutuka

Added 27th May 2016

Olumubikidde muzzukulu we naye n’akutuka

 Sharifah Mugoya (atikkidde enkoofi ira) bwe yali atikkirwa e Makerere. Wano mu January 2016 yali ne jjajja we Mugoya eyafudde (ku kkono), jjajja we Safi na ne kitaawe Bashir Mugoya (ku ddyo).

Sharifah Mugoya (atikkidde enkoofi ira) bwe yali atikkirwa e Makerere. Wano mu January 2016 yali ne jjajja we Mugoya eyafudde (ku kkono), jjajja we Safi na ne kitaawe Bashir Mugoya (ku ddyo).

JJAJJA bamubikidde muzzukulu we abadde yaakatikkirwa mu yunivasite e Makerere, era awo puleesa w’emukubidde n’ekyaddiridde kufa, era bombi baabaziise ku lunaku lwe lumu (ku Lwokubiri)!

Ekikangabwa kino kyagudde Jinja ku kyalo Nawampanda ku Mmande, musajjamukulu Abdul Mugoya bwe yatondose nga bamubikidde muzzukulu we Sharifa Mugoya.

Safi na Mugoya, jjajja wa Sharifah omukazi gw’abadde abeera naye e Makindye mu zooni ya Kipamba agamba nti y’akuzizza muzzukulu we okutuusa lwe baamutikkidde mu ‘Social Science’ nga January 22, 2016. Kitaawe Bashir Mugoya yamuzaala mu nnyina Paulina Naluwooza ng’akyasoma era akulidde ku bujjajja.

Sharifah yafudde olumbe olutategeerekeka. Yasooka kukogga nga tayagala kulya ne bamukebera mu malwaliro ag’enjawulo obulwadde ne bubula. Waliwo Abasiraamu abaategeeza nti alimu amajiini, era wadde baabawa ssente okugamugobamu, tebyayambye, n’afa ekiro kya Mmande

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...