TOP

Beefudde abagula ettaka ne batta nnannyini lyo

Added 30th May 2016

Baamukubidde essimu ku ssaawa 7:00 ez’emisana ku Lwokutaano ne balagaana okusisinkana ku ssaawa 12:00 akawungeezi bateese ku bya poloti eri okumpi n’amaka ga kitaawe Erifazi Mutyaba e Kitovu.

 Omugenzi Kinene ne muganda we Kikonyogo (ku ddyo) eyakwatiddwa. Wano baali ku kabaga k’okutikkira Nanziri, muwala wa Kinene.

Omugenzi Kinene ne muganda we Kikonyogo (ku ddyo) eyakwatiddwa. Wano baali ku kabaga k’okutikkira Nanziri, muwala wa Kinene.

Bya PATRICK TUMWESIGYE

ABATEMU bayise ssemaka mu maka ge e Kitende okumpi ne Kajjansi ku lw'e Ntebe nga beefudde nga abaagala okugula poloti eri okumpi n'amaka ga kitaawe e Kitovu mu ggombolola y'e Ssisa.

Ekiddiridde, aba famire ye kubadde kumusanga nga bamutemyetemye embazzi ku mutwe n'oluvannyuma n'afa.

Esau Kinene, omutuuze w'e Kitende Zooni A ye yattiddwa mu bukambwe.

Baamukubidde essimu ku ssaawa 7:00 ez'emisana ku Lwokutaano ne balagaana okusisinkana ku ssaawa 12:00 akawungeezi bateese ku bya poloti eri okumpi n'amaka ga kitaawe Erifazi Mutyaba e Kitovu.

Mulekwa Nanziri

 

BAKUTTE ABOOLUGANDA 2

Ettemu lino likwasizza Dennis Kikonyogo, muganda w'omugenzi ne Jovan Magala (omwana wa muganda we) basobole okuyamba ku poliisi okunoonyereza.

Bamulekwa b'omugenzi obwedda bakaaba kimu nti, "obusirise bwa taata bwe bumussizza," olwo nga basinziira ku kusika omuguwa okubaddewo wakati wa kitaabwe ne muganda we Kikonyogo gwe balumiriza nti abadde yaggula ku kitaabwe olutalo ng'alowooza agenda kumutwalako obusika.

Dorothy Justine Nanziri, omu ku bamulekwa yategeezezza nti, "ku Lwokutaano ku ssaawa 7:00 abantu abeeyise babbulooka baakubidde taata essimu era bwe zaaweze 11:30 n'asimbula pikipiki okugenda e Kitovu.

Bwe bwawungedde nga takomawo ne tumunoonya okutuusa lwe twamuzudde e Kitovu ku poloti ku ssaawa 7:00 ez'ekiro.

Twamututte mu ddwaaliro e Kisubi n'afa nga twakatuukayo." Omugenzi alese abaana musanvu ne nnamwandu. Abaakwatiddwa bagguddwaako omusango ku fayiro nnamba SD7/28/5/2016.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...