TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omwana gwe babba nga wa myezi 2 bamuzudde wa mwaka

Omwana gwe babba nga wa myezi 2 bamuzudde wa mwaka

Added 3rd June 2016

OMUKAZI eyabba omwana n’amuwa bba oluvannyuma eyamuwa akasiimo k’ennyumba olw’okumuzaalira ‘omusika’, poliisi emukutte oluvannyuma lw’emyezi 10 ng’emuyigga.

 Namatovu n’omwana gwe yabba . EBIFAANANYI BYA VIVIEN NAKITENDE

Namatovu n’omwana gwe yabba . EBIFAANANYI BYA VIVIEN NAKITENDE

OMUKAZI eyabba omwana n’amuwa bba oluvannyuma eyamuwa akasiimo k’ennyumba olw’okumuzaalira ‘omusika’, poliisi emukutte oluvannyuma lw’emyezi 10 ng’emuyigga.

Aisha Namatovu 30, yalimba bba Jimmy Kagimu, bwe babeera mu Ssembuule B Zooni e Kabowa, olubuto n’agenda okwabya olumbe ewaabwe e Ssembabule ng’amutegeezezza nti okudda (e Kabowa) alimalira ddala kuzaala.

Kigambibwa nti Namatovu yakomawo asitudde bbebi ow’emyezi ebiri, bba n’abugaana essanyu era n’amuwa ennyumba okuli emizigo gy’abangisa 10 ng’akasiimo k’okumuzaalira omusika.

Okuva bwe yadda ne bbebi, Namatovu ky’abadde ayoya nga Kagimu aleeterawo era baliraanwa bagamba nti n’omwana yennyini abadde amulinamu pulaani nnyingi ez’omu maaso.

Patrick Kyaluzzi omu ku bakuumaddembe mu Lubaga ng'akutte omwana gwe baakutte ne Namatovu gw'agambibwa okubba mu lumbe e Ssembabule n'amusiba bba.

 

Poliisi y’e Kitebi yakutte Namatovu oluvannyuma lw’owooluganda lwe atayagadde kumwatuukiriza mannya, eyagitemezzaako nga bwe yabba omwana ewaabwe mu kyalo nga ne gwe yamubbaako amanyi nti omwana we baamusaddaaka. omukazi eyabba omwana ku lumbe e Ssembabule amusibe bba afune ku by’obugagga bye, omwana yali wa myezi ebiri akwatiddwa wa mwaka gumu.

Omukwate ye Aisha Namatovu 30 omutuuze mu zooni ya Ssembule B e Kabowa ng’ono yalimba bba Jimmy Kagimu nti ali lubuto ate nga talina olwo kwekugenda mu lumbe ewaabwe e Ssembabule nabbayo mwana wa myezi ebirir naamumusiba.

Akulira eby’okwerinda mu muluka gw’e Kabowa, Isaac Ssewankambo, agamba nti yasisinkanye Namatovu n’amukwata mpola n’amubuulira nga bw’afunye amawulire nti omwana gw’alina si wuwe, n’akkiriza kyokka n’amusaba abisirikire ng’amusuubizza okumuwa ssente zonna z’ayagala.

Namatovu n’omwana gwe yabba. Wakati nga bamumuggyeeko ate ku ddyo ng'atunula binsobedde!

 

Yamugambye nti omwana yamubba mu lumbe olwali ku kyalo ewaabwe e Kasebwera mu disitulikiti y’e Ssembabule. “Yagambye nti waliwo omukyala eyali yeebasizza omwana wansi ng’anonye emmere kwe kumubbawo mu bwangu n’amuleeteera bba,” Ssewankambo bwe yattottodde engeri Namatovu gye yabbamu omwana.

Kagimu akola gwa bubazzi era alina ettaka eriwerako n’amayumba g’abapangisa e Kabowa, kitaawe ge yamulekera kale nga kirowoozebwa nti kye kyatengula Namatovu okubba omwana asobole okugabana ku byobugagga bwe.

Namatovu yasabye poliisi emusonyiwe waakiri azzeeyo omwana nti kubanga naye eky’okumubba yali akikola lwakuba bba yali ayagala nnyo omwana ate nga ye olubuto lwe yalina lwavaaamu.

Emizigo Kagimu gye yawa Namatovu olw'okumuzaalira omwana omulenzi.

 

Akulira ba mbega ku poliisi e Kitebi, Francis Kateega ategeezzeza nti Namatovu bamugguddeko omusango gw’okubba omwana ku fayiro GF02/2016 nga kati bagenda kukolagana wamu ne poliisi y’e Ssembabule okunoonya nnyina w’omwana omutuufu olwo ne Namatovu atwalibwe mu kkooti avunaanibwe.

Ye Kagimu olwawulidde okukwatibwa kwa mukyala we n’adduka nga tategedde na bigenda mu maaso, Juma Mugisha muliranwa wa ba Kagimu agamba; ffenna omukyala ono bweyaleeta omwana nti wa Kagimu twewuunya kuba Kagimu ffe bulijjo tumanyi aliko ekitali kituufu ate ng’omukyala ono yali atera okukyala ewa Kagimu naye nga tetumulaba na lubuto era nga tubeera twewuunya gyeyaggya omwana kuba wadde yamuleeta muto naye nga tamuyonsa.

Emizigo Kagimu gye yawa Namatovu olw'okumuzaalira omwana omulenzi.

 

Olumu namubuuzaako lwaki tayonsa mwana muto bwatyo nantegeeza nti omwana alina amabwa mu kamwa ate abamu ng’abagamba nti yalwala obulwadde bw’ebinnyo ate naamala nategeeza nti alina akawuka ka siriimu tasobola kuyonsa kale nembivaako naye nga ffenna tubadde twemulugunya ku mwana ono oba ddala wa munnaffe Kagimu naye ekirungi amazima gavuddeyo kati poliisi ekole ogwayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Joel Kakembo akunz...

Omusumba Joel Kakembo owa Mt. Zion Church Gayaza era akulira Upper Room Pastors Network, akubirizza abasumba okwetaba...

Abatuuze mu lukiiko.

Nnamukadde yeekubidde enduu...

Nnamukadde Teddy Nakirijja 75, nnamwandu w'omugenzi Disan Mukasa yeekubidde enduulu mu ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga...

Omubaka Kabanda ng'ayogera eri abaddusi.

'Muwagire nnyo enteekateeka...

OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti, Mary Babirye Kabanda emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka agisimbudde n'abaddusi...

Amuriat (owookusatu ku ddyo) ne banne nga batudde mu luguudo wakati.

Wano nvaawo na guleeda - Am...

Wabaddewo akanyoolagano wakati w'akwatidde FDC  bendera okuvuganya ku bwapulezidenti, Patrick Oboi Amuriat ne Poliisi....

Ssaabasumba ng'akwasa Omukristu Bayibuli. (Ebif. Ponsiano Nsimbi)

Abavubuka mukomye okukola e...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alabudde abavubuka  okukomya okukola effujjo....