TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakansala temulwanyisa bassentebe bammwe - Bwanika

Bakansala temulwanyisa bassentebe bammwe - Bwanika

Added 4th June 2016

Bakansala temulwanyisa bassentebe bammwe - Bwanika

 Okuva ku kkono Town Clerk w’e Nansana Hadijah Ssengendo, omubaka Wakayima Nsereko Musoke, ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso Matia Lwanga Bwanika ne Meeya Bakitte ng’alayizibwa.

Okuva ku kkono Town Clerk w’e Nansana Hadijah Ssengendo, omubaka Wakayima Nsereko Musoke, ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso Matia Lwanga Bwanika ne Meeya Bakitte ng’alayizibwa.

SSENTEBE wa disitulikiti y’e Wakiso, Matia Lwanga Bwanika alabudde bakansala okwewala okulwanyisa bassentebe b’amagombolola ne bameeya ba Munisipaali kuba kisobola okuzih− hamya enkulaakulana mu bitundu byabwe.

Bwanika yajjukizza bakansala nti, bwe baagenda mu kakiiko k’ebyokulonda buli omu yasaba ekifo ky’ayagala ng’abamu baasaba bwassentebe bw’amagombolola abalala bwameeya bwa Munisipaali ate n’abamu bwakansala nga teri nsonga lwaki bakansala bakwatirwa bakama baabwe obuggya ne batandika okubalwanyisa.

Okwogera bino yabadde ku mukolo gw’okulayiza Meeya asoose owa munisipaali y’e Nansana, Regina Nakkazi Bakitte (DP) ne bakansala be 53. Omukolo gwetabiddwaako Meeya w’ekibuga kye Nteb, Vincent Kayanja, n’omubaka wa Pulezidenti e Wakiso Ying.

Ian Kyeyune. Bwanika yategeezezza bakansala ku munisipaali y’e Nansana nti obuyinza bwonna Meeya Bakitte y’abulina era n’abasaba okukwatagana naye obulungi okusobola okutuusa empeereza ennungi eri omuntu waabulijjo.

Meeya Bakitte yeebazizza abalonzi olw’okumuyiira obululu era n’awera okukola emirimu eginaayamba okukulaakulanya ekibuga ky’e Nansana ng’atandikira kukuba enguudo kkoolaasi, okutumbula ebyenjigiriza, okubunyisa amazzi amayonjo, okuyoola kasasiro n’ebyobulamu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...