TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Polof. w'e Makerere eyasobya ku muyizi bamusindise mu kkooti enkulu

Polof. w'e Makerere eyasobya ku muyizi bamusindise mu kkooti enkulu

Added 7th June 2016

KKOOTI y’oku LDC ng’ekulembeddwamu Moses Baligeya esindise Polof. wa yunivasite ye Makerere, Christopher Bakunneta (55) mu kkooti enkulu awerennembe n’omusango gw’okusobya ku muyizi.

KKOOTI y’oku LDC ng’ekulembeddwamu  Moses Baligeya esindise Polof. wa yunivasite ye Makerere, Christopher Bakunneta (55) mu kkooti enkulu awerennembe n’omusango  gw’okusobya ku muyizi.

Florence Birungi nga y'akulembedde mu oludda oluwaabi ategeezezza kkooti nti okunoonyereza mu musango guno kuwedde era omuvunaanwa asaanidde okusindiikibwa mu kkooti enkulu omusango gwe gye gunaawulirwa.

Birungi agamba nti Bakuneta yakaka omuyizi we, Vasha Ntegeka, eyali mu mwaka gwe ogusooka mu mwezi gwa March, 24th /2016 akaboozi k'ekikulu oluvannyuma lw’okumusanga ku garage. 

Ntegeka yateegeza ku balirwana be ku byonna ebyaliwo era nga be bagenda okubeera abajulizi mu musango guno nga gutandise okuwulirwa era n'engoye ze yalimu kw'olwo, oludda oluwabi zigenda kuzeeyambisa ng'ekizibiti mu kkooti.

Ebizibitti ebirala ebigenda okweyambisibwa mu musango guno mulimu Foomu ya poliisi okuva ku poliisi ye Wandegeya okwekebejjebwa Ntegeka ne Bakuneta ,olugoye omuwala lwe yali ayambadde ne sitatimenti omuvunaanwa gye yakola ku poliisi ngakiriza omusango.

Omulamuzi alagidde Bakuneta azzibwe ku alimanda e Luzira okutuusa kkooti enkulu lw'eneekola enteekateeka ezimuzza mu kkooti.

Ebirala.....

Polof. w'e Makerere aleppuka na gwa kusobya ku muyizi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeefudde agula essimu n'ag...

Bya Rosemary Nakaliri  Abasuubuzi b'oku Kaleerwe baazingizza ababbi abeefudde bakasitoma abazze okugula essimu...

Kayemba n'ensawo ye emweyagaza.

Kyama ki ekiri mu bbulifukk...

Geoffrey Kayemba Ssolo avuganya ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi South ensawo ya Jjajja we emweyagaza.

Minisita Kibuule mu ssuuti ng'atongoza okusimba emiti gy'amasannyalaze.

Ab'e Nama bawonye okusula m...

Abatuuze mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bafunye akaseko ku matama bwe babawadde amasannyalaze...

Kasingye ng'akwasa Omusumba Jjumba masiki.

Poliisi n'amagye byetondedd...

POLIISI n'amagye byetondedde Omusumba w'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa (mu kifaananyi ku ddyo) olw'okukuba...

Buchaman ne mukyala we nga bakwasa abaserikale ebyambalo by'amagye.

Buchaman awaddeyo ebyambalo...

OMUWABUUZI wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto, Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman akwasizza ab’ebyokwerinda ebyambalo...