TOP
  • Home
  • Agawano
  • Bazadde b'omuyizi eyafiiridde mu kidiba kya wooteeri tebamatidde nfa ye

Bazadde b'omuyizi eyafiiridde mu kidiba kya wooteeri tebamatidde nfa ye

Added 11th June 2016

ABAZADDE b’omuyizi wa Muteesa 1 Royal e Mengo - Kakeeka eyafiiridde mu kidiba kya wooteeri ya Ivy’s e Nateete ensonga bazitutte ku poliisi nga tebaamatidde nfa ya mwana waabwe.

 Omugenzi Mpalanyi

Omugenzi Mpalanyi

ABAZADDE b’omuyizi wa Muteesa 1 Royal e Mengo - Kakeeka eyafiiridde mu kidiba kya wooteeri ya Ivy’s e Nateete ensonga bazitutte ku poliisi nga tebaamatidde nfa ya mwana waabwe.

Imran Mpalanyi 24, abadde mu mwaka ogusembayo ng’asoma byabulambuzi, yasangiddwa ng’omulambo gwe gutengejjera mu kidiba kya wooteeri eno ku Lwokubiri ekiro.

Mukwano gw’omugenzi ayitibwa Ivan Kigudde agamba nti, yakoma okwogera naye ku ssaawa 5:00 ez’ekiro ku Lwokubiri.

Omu ku ba poliisi eyatuuse ku mulambo ataayagadde kumwatuukiriza mannya yagambye nti, yakebedde omulambo kyokka nga wakyaliwo ebibuuzo ebikyetaaga okuddibwamu okuzuula ekituufu ku nfa y’omugenzi.

Maama w’omugenzi, Joweria Nakyeyune agamba nti tayinza kukkiriza nti mutabani we yafudde mazzi kubanga amanyi bulungi okuwuga ate n’amateeka g’ekifo obutawuga kiro abadde agamanyi bulungi.

Kitaawe w’omugenzi Ssaalongo Isa Malunda agamba, okusinziira ku ndabika y’omulambo gw’omwana, teyalabise ng’eyafiiridde mu mazzi.

Bannannyini wooteeri eno bwe twabatuukiridde bagaanye okubaako kye boogera kubanga ensonga ziri ku poliisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...