TOP

Munyagwa atunudde ebikalu ku Poliisi e Mpigi

Added 14th June 2016

Munyagwa atunudde ebikalu ku Poliisi e Mpigi

 Munyagwa nga yenyoola n'abasirikale ba Poliisi ye Mpigi

Munyagwa nga yenyoola n'abasirikale ba Poliisi ye Mpigi

OMUBAKA wa Kawempe South atuuyanidde ku poliisi y'e Mpigi  bwe bakutte abasajjabe be yali yasindika  mu kibira kya gavumenti aba NFA ne babakwata oluvannyuma lw'okubasanga nga bakisiba seng'enge.

 Mubarak Munyagwa amanyiddwa nga Mugaati gwa Bata yeenyodde ne  poliisi y'e Mpigi ng'ayagala eyimbule basajjabe poliisi  be yakwatidde mu kibira kya gavumenti ekya Luwafu forest reserve  ekisangibwa e Bunjakko mu ggomboloola y'e Buwama mu Mpigi, ky'agamba nti yakigula era basajja be era baakwatiddwa mu bukyamu.

Munyagwa eyabadde n'ekibinja ky'abavubuka yasoose kuleetawo  kakyankalano ku poliisi y'e Mpigi oluvannyuma n'ayingira mu ofiisi ya  DPC ng'ayagala ayimbule mangu basajjabe kuba tebalina  musango kyokka yatuuyanye poliisi bwe bagaanye okubayimbula ne bamutegeeza nti kusooka kunnyonnyola kye baabadde  bakola mu kibira kya gavumenti.

Munyagwa eyabadde akambuwadde okukira ennumba yaggyeyo ekyapa  ky'ettaka lye ery'e Bunjakko eriwerako yiika 50 n'akikuba ku mmeeza wamu n’endagaano kwe yagulira n'alabula aba NFA nti singa banaagenda mu  maaso n'okumulemesa okukulaakulanya ettaka lye n’okubba emiti gye  waakubaggulako omusango.

Munayagwa ne basajjabe nga bava ku Poliisi e Mpigi

Busobozi ategeezezza poliisi nti baali bayimiriza dda  Munyagwa okusaawa emiti mu kibira kino ky'ayita ettaka lye era  ne bamuggulako omusango ku poliisi y'e Buwama era n'abivaako  wabula bwe wayise akabanga n'akomawo ne basajjabe n'abalagira  okusaawa ekibira nga basimbamu emiti gya kalitunsi olwo ne batandika  okusiba olugo okwetoloola ekibira.

Munyagwa alumirizza kansala w’omuluka gwe Bunjako Deo Ssendegeya okukulemberamu abatuuze ne basaawa emiti mu ttaka lye kyokka Ssendegeya n'ategeeza nti Munyagwa yayiwa abasajja abatamanyiddwa  mu kibira kya gavumenti nga tamaze kubanjula mu bakulembeze ba  kitundu, ekintu ekimenya amateeka, baabekanze basiba sengenge.

Aduumira poliisi y'e Mpigi, Ahmed Kimera Sseguya asabye enjuyi zombi okutuula zikkaanye kyokka n'asaba akulira NFA mu ttundutundu lya  'Greater Mpigi' Milton agende mu bakamaabe aleete ekyapa ky'ettaka  ly'ekibira ky'e Luwafu nga tebannaba kuggula ku bakwate misango  gya kusaalimbira mu kibira kya gavumenti.

Abakwate baayimbuddwa  ku kakalu ka poliisi olwo embeera n'edda mu nteeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...