TOP

Klezia ewandiikidde Museveni

Added 15th June 2016

Mu bubaka bwabwe eri Palamenti, Abasumba baasabye Palamenti okubeera ensaale mu kukola ennoongosereza mu Konsitityusoni okutereeza ebyobufuzi by’eggwanga nga bayita mu kuteesa, okukkaanya n’okwebuuza ku bantu abaabalonda.

 Ssaabasumba Lwanga (ku kkono) ng’alaga akatabo akaawandikiddwa paapa Francis,omubaka wa paapa Micheal Blume ne ssentebe w’ekibiina ky’abepisikopi Rev. John Baptist Odama mu lukungaana lw’abamawulire.

Ssaabasumba Lwanga (ku kkono) ng’alaga akatabo akaawandikiddwa paapa Francis,omubaka wa paapa Micheal Blume ne ssentebe w’ekibiina ky’abepisikopi Rev. John Baptist Odama mu lukungaana lw’abamawulire.

Bya Ahmed Mukiibi

ABASUMBA ba Eklezia ya Uganda bafulumizzaawo ekiwandiiko ku mbeera eriwo mu ggwanga ne balabula ku katyabaga Uganda keeyolekedde singa tewabaawo kikyukamu ku ngeri ebyobufuzi gye bikwatiddwaamu okuva okulonda lwe kwaggwa mu February 2016.

“Tuteekwa okujjukira ebyafaayo bya Uganda, twewale okuzza eggwanga lyaffe mu biseera ebyakaziggiziggi,” Abasumba bwe baalabudde mu kiwandiiko ekyassiddwaako omukono gwa ssentebe w’olukiiko lw’Abasumba, John Baptist Odama.

Abasumba baategeezezza nti, Uganda nsi yaffe ffenna, era tulina okugyenyumirizzaamu nga tulafubana okugiwangaliramu mu mirembe, obumu n’omukwano nga tuyita mu kuwagira enteekateeka ez’okukkaanya mu byobufuzi, okusonyiwagana, obwenkanya n’obutebenkevu ku mitendera gyonna.

Baasembye wabeewo ennoongosereza mu Konsitityusoni , ennonda y’akakiiko k’Ebyokulonda ekyukemu, ekkomo ku bisanja bya Pulezidenti lizzibwe mu Konsitityusoni era ne basaba wabeewo n’enteeseganya wakati wa Gavumenti n’oludda oluvuganya ku lw’obulungi lw’eggwanga.

Mu buufu obwo, Abasumba balina obubaka obw’okwefumiitiriza bwe bawadde Gavumenti empya eyaakalondebwa, Palamenti empya, ekitongole ekiramuzi, ab’ebyokwerinda ne Bannabyabufuzi ne Bannayuganda okutwaliza awamu.

GAVUMENTI ESSE EKITIIBWA MU MATEEKA NE KONSITITYUSONI

Mu bubaka bwabwe eri Gavumenti, Abasumba baasemba, Gavumenti esse ekitiibwa mu mateeka ne Konsitityusoni kubanga guno gwe musingi ogw’enfuga eya Demokulase. Abasumba baagambye nti amateeka tegalina kutyoboolwa olw’okubanga Gavumenti erina obukuku bwayo obw’ebyobufuzi ku balala.

Baasabye eb’ebitongole ebyokwerinda okwewala okukozesa eryanyi erisusse nga bakwasisa amateeka. Bajjukiza Gavumenti nti buvunaanyizibwa bwayo okussa ekitiibwa mu ddembe ery’obuntu erirambikiddwa mu Konsitityusoni nti lya bwebange so terigabibwa Gavumenti.

ABABAKA MUKULEMBEZE EBIRUMA ABANTU SI BIBIINA BYAMMWE

Mu bubaka bwabwe eri Palamenti, Abasumba baasabye Palamenti okubeera ensaale mu kukola ennoongosereza mu Konsitityusoni okutereeza ebyobufuzi by’eggwanga nga bayita mu kuteesa, okukkaanya n’okwebuuza ku bantu abaabalonda.

Abasumba era baasabye ababaka okubaga n’okuyisa amateeka agayamba abantu so si kuyisa mateeka agayamba ebibiina.

Ababaka baasabiddwa okwewala okusalirawo mu bubondo bw’ebibiina byabwe ku nsonga enkulu ezikwata ku bantu.

Baanokoddeyo ensonga; Eyokusattulula obufumbo, n’ensonga Ey’okuggyamu embuto nti amateeka ku nsonga ezo galina okubeera nga tegatyoboola obuwangwa n’enzikiriza ey’Ekikristaayo.

ABALAMUZI MWEWALE KYEKUBIIRA

Eri ekitongole ekiramuzi, Abasumba tebaalumye mu bigambo bwe baasabye Abalamuzi okwewala okusala emisango mu kutya n’okwekubira ne babajjukiza nti Ekitongole ekiramuzi kiteekwa okwetongola nga Konsitityusoni bw’eragira mu katundu 126.

Abasumba baategeezezza nti babiwulira nti ekitongole ekiramuzi oluusi kirina abakiyingirira mu mirimu gyakyo nga balagira Abalamuzi okusala emisango mu ngeri bo gye baagala kye baagambye nti kikyamu kimenya Konsitityusoni ne Bayibuli.

BANNABYABUFUZI MWEWALE EBYOBUFUZI EBYAWULA MU BANTU:

Abasumba basabye bannabyabufuzi okweyambisa amakubo aga Demokulaase okugonjoola obutakkaanya ku mitendera gyonna kye baagambye nti kino kye kijja kuyamba okutereeza ebyobufuzi.

Baasabye Bannabyufuzi okukulembeza ebyobufuzi ebigatta abantu mu kifo ky’Ebyobufuzi ebyawulayawula mu bantu. “ Abakulembeze ab’oludda oluvuganya tubasaba okufaayo okulaba nti bagondera amateeka era basse ekitiibwa ne mu ddembe lya Bannayuganda abalala”, ekiwandiiko bye kyasomye BANNAYUGANDA MUKUUME EMIREMBE Abasumba baasabye Bannayuganda nti ng’okulonda bwe kwawedde, bateekwa okukuuma emirembe n’okwewala okwenyigira mu bikolwa eby’effujjo.

Mu kiwandiiko kino, Abasumba bavumiridde ebikolwa eby’ebitongole ebyokwerinda okuyoola abakulembeze ab’oludda oluvaganya n’abawagizi baabwe okuva okulonda lwe bbanga. Abasumba baagambye nti ekisinga okubennyamiza kwe kuba nti abantu abakwatiddwa bangi tebafunye kulamulwa ng’amateeka ga Uganda bwe galagira.

Bawabudde ebitongole ebikuumaddembe Baagambye nti enkola ey’ebitongole ebikuuma ddembe okukozesa eryaanyi erisusse ku bantu ereetawo embeera ey’abantu okwekyawa n’okuggwaamu essuubi kye baagambye nti si kirungi eri Uganda eyakayingira eby’obufuzi eby’ebibiina ebingi Kyokka n’aboludda oluvuganya, Abasumba baabasabye okweyisa mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa n’okussa ekitiibwa mu mateeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...

Ekiggwa ky'Abajulizi e Namu...

Engeri Ekiggwa ky'Abajulizi e Namugongo gye kifaanana. Eno gye battira Abajulizi era ekifo kino kyafuuka kya bulambuzi...

Abamu ku beetabye mu lukiiko.

Alina poloti etaweza 50 ku ...

Minisitule y’eby’ettaka n’okuteekerateekera ebibuga bafulumizza enteekateeka empya ey’okuzimba mu bibuga. Bategeezezza...

SPC Faizal Katende.

SPC Faizal Katende eyakwati...

OFIISA wa poliisi SPC Faizal Katende asabye kkooti emukkirize okuyimbulwa ku kakalu ka`ayo. Bino Ssentebe wa kkooti...

Ssentebe Sserwanga (alina enkumbi) ng'atema evvuunike ly'okuzimba eddwaaliro.

Gavumenti ewadde ab'e Kayun...

GAVUMENTI ewadde ab’e Kayunga obukadde bw’ensimbi 600 okugaziya eddwaaliro lya Busaale mu ggombolola y’e Kayunga...