TOP

Baminisita 76 bakakasiddwa 3 basuuliddwa

Added 18th June 2016

Baminisita 76 bakakasiddwa 3 basuuliddwa

 Benna Namugwanya

Benna Namugwanya

BAMINISITA 76 baakakasiddwa akakiiko ka Palamenti ate abalala basatu ne basuulibwa olw’obutabeera na bisaanyizo. Akakiiko akakulira sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga kamaze ennaku ssatu nga kasunsula baminisita.

Adrian Tibaleka eyabadde aweereddwa okubeera minisita w’abakadde n’abaliko obulemu yagaaniddwa. Ensonda zaategeezezza nti yalemeddwa okwennyonnyolako mu Luzungu ng’ebiwandiiko by’obuyigirize tebikwatagana.

Ismael Orot (Kanyum County e Kumi ) eyabadde aweereddwa obwaminisita omubeezi ow’e byemirimu naye baamugaanyi ng’ensonda zaategeezezza nti obusobozi bwe ku kifo kino bwabadde bubuusibwa. Harriet Ntabazi, baagaanye okumukakasa ku bwaminisita omubeezi avunaanyizibwa ku by’amakolero.

Ebiwandiiko by’obuyigirize byabadde tebikwatagana bulungi nga yalemeddwa n’okulambulula obuvunaanyizibwa obwamuweereddwa eri akakiiko. Ruth Acheng (UPC) eyabadde aweereddwa obwaminisita w’e byobuvubi, Pulezidenti yennyini yawandiikidde akakiiko ng’abagamba baleke okumukakasa.

Kyategeezeddwa nti ababaka ba NRM bwe baasisinkana Pulezidenti baamusabye ku Betty Amongi ne Acheng aba UPC alondeko omu. Yasazeewo okulondako Amongi.

BA MINISITA ABAA KAKASIDDWA BOOG EDD E BYE BATAND IKIRAKO:

Benna Namugwanya Bugembe (mukazi, Mubende) minisita omubeezi avunaanyizibwa ku kibuga Kampala, yategeezezza nga bw’agenda okulaba ng’amalawo obutakwatagana obuli mu bakozi ba Gavumenti abakulemberwa Jennifer Musisi ne bannabyabufuzi abakulemberwa Loodi Meeya Erias Lukwago.

Rosemary Kizza Seninde (mukazi, Wakiso), avunaanyizibwa ku by’enjigiriza bya pulayimale, yasiimye pulezidenti okumussa mu minisitule gy’ategeera obulungi. Yalaze essanyu okubeera ng’agenda kukolagana ne minisita Janet Museveni nga mukama we.

Kahinda Otafiire minisita w’a mateeka ne nsonga za Ssemateeka yagambye nti agenda kumaliriza ebitaggwa mu kisanja ekiwedde. Haruna Kyeyune Kasolo (Kyotera) , minisita wa Microfinance, yagambye nti atandikira ku kusomesa abantu etteeka eppya erifuga ebibiina bya microfinance.

Ronald Kibuule (Mukono North) minisita avunaanyizibwa ku by’amazzi n’asuubiza okutuusa amazzi amayonjo mu bibuga byonna we gunaatuukira 2020 ate nga mu byalo abantu 79 ku buli 100 bajja kuba bagalina. Abalala abaakakasiddwa kwabaddeko J.C Muyingo minisita avunaanyizibwa ku matendekero agawaggulu, Charles Bakkabulindi ow’ebyemizannyo, Persis Namuganza avunaanyizibwa ku by’e ttaka n’abalala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...