TOP

Aba Kifeesi babakutte banyaga ebbaala e Kawaala

Added 20th June 2016

POLIISI y’e Kawaala ng’eyambibwako abatuuze ekutte ababbi bataano abali mu kikoosi kya kifeesi ekibadde kitigomya Kawaala n’ebitundu ebiriraanyeewo omuli Nakulabye, Namungoona n’ebirala.

 Abamu ku baakwatiddwa abaalokomye bannaabwe.

Abamu ku baakwatiddwa abaalokomye bannaabwe.

POLIISI y’e Kawaala ng’eyambibwako abatuuze ekutte ababbi bataano abali mu kikoosi kya kifeesi ekibadde kitigomya Kawaala n’ebitundu ebiriraanyeewo omuli Nakulabye, Namungoona n’ebirala.

Abaakwatiddwa kuliko; Ali Dumba ng’ono yeeyita ‘Fake Dollar’ era nga y’akulira ekikoosi kino, Meddie Kigenyi, Isma Yiga, Ali Mayanja ne Rashid Kivumbi.

Okubakwata kiddiridde omutuuze Robert Twalirana okubagulizaako poliisi mu kiro ng’abataano bano bwe balumbye ebbaala ya Relaxer’s pub esangibwa mu zooni ya Kawaala Central.

Poliisi yayanguye n’ekwata babiri oluvannyuma nabo ne boogera bannaabwe be baakutte ku ssaawa nga 10:00 ez’ekiro.

Bataano baakwatiddwa abalala ne badduka. Dorah Kemigisha 19, eyabadde asuze mu bbaala ya mukama we, Catherine Nakiryowa yategeezezza nti mu kiro yeekanze abantu, basambye oluggi ne bayingira munda era n’alaba abasajja omu n’amusongamu emmundu ng’ate omulala akutte akambe, omulala jjambiya ne bamusiba kantuntumu mu maaso.

Baatandise okumukanda ssente n’abagamba nti tazirina olwo kwe kutikka ebintu by’ebbaala omwabadde ttivvi, woofer n’ebirala nga bayambibwako bannaabwe abaabadde basigadde ebweru.

“Ekya ssente bwe kyagaanyi ne baηηamba nti bwe sizibawa bagenda kunsobyako era ekyantaasizza bannaabwe abaabadde ebweru kwe kubagamba nga poliisi bw’ezze olwo ne babuna emiwabo,” Kemigisha bwe yategeezezza.

Robert Twalirana, ddereeva wa takisi nga muliraanwa w’ebbaala eno eyakubidde poliisi essimu agamba nti ababbi baludde nga babatigomya mu katundu kano nga poliisi ebakwata kyokka ne bakomawo.

Atwala poliisi y’e Kawaala, ASP Richard Asiimwe yategeezezza nga poliisi bw’egenda okunoonyereza okulaba nga n’abalala bakwatibwa. Bagguddwaako emisango gy’obubbi ku fayiro SD/02/17/06/16.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minista Haruna Kasolo ng'asomesa ku kwekulaakulanya n'enkozesa y'ensimbi za MYOOGA

Abatuuze b'ekira basomesedd...

MINISITA omubeezi akola kunsonga z'ebibiina byobwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, akubiriza abantu okwebereramu nga...

Aba Twaweza bafulumizza ali...

KUNOONYEREZA kuzudde nti ab’enganda okusaba abantu babwe sente okubayambako okuvvuunuka embeera kifuuse kyabulijjo...

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...