TOP
  • Home
  • Ono ye kampala
  • Ab'akatale ka Kisekka batandise ekizimbe ekirala: Kiriko amaduuka 300

Ab'akatale ka Kisekka batandise ekizimbe ekirala: Kiriko amaduuka 300

Added 20th June 2016

ABASUUBUZI b’akatale ka Kisekka batandise okusitula ekizimbe ekyokubiri eky’amaduuka agasoba mu 300 oluvannyuma lw’okutuusa ekyasooka ku mwaliiro ogwokutaano we kisoose okukoma.

 Lubwama ng’alaga ekizimbe ekirala kye baatandise okuzimba.

Lubwama ng’alaga ekizimbe ekirala kye baatandise okuzimba.

ABASUUBUZI b’akatale ka Kisekka batandise okusitula ekizimbe ekyokubiri eky’amaduuka agasoba mu 300 oluvannyuma lw’okutuusa ekyasooka ku mwaliiro ogwokutaano we kisoose okukoma.

Ekisoose baakituumye Block A. Nakyo kirimu amaduuka agasoba mu 300. Kino kisigadde kutandika kusalibwamu maduuka n’okussaamu endabirwamu n’amasannyalaze oluvannyuma batandike okugabira abaamalayo omutemwa gwabwe.

Ekizimbe ekyokubiri baakitandise mu May w’omwaka guno. Oludda olumu bamalirizza okwaliririra emitayimbwa n’okusitula ezimu ku mpagi mwe batadde ne lifuti egenda okutambuza ebyuma ebinene nga yingini z’emmotoka.

Dayirekita w’ebyamawulire n’emirimu, Simon Peter Lubwama eyabadde ne bakulembeze banne abaakuliddwa Ssentebe Robert Kasolo Kisembo baalambudde omulimu ne basiima kkampuni ya ROKO Construction Ltd egukola.

“Bw’olaba engeri gye baaliriramu wansi mu musingi n’emitayimbwa okkiriza nti ddala kkampuni erina abakugu. Bo tebakozesa mayinja wansi mu musingi okuggyako emitayimbwa eminene gye basiba n’enkokoto ne seminti. Oluvannyuma basitula empagi era kyalibadde kirungi buli muntu n’akozesa ku kkampuni ennene nga bwe tukoze,” Lubwama bwe yagambye.

Yategeezezza nti baakakozesa ssente ezisoba mu bukadde bwa doola butaano. “Omulimu gwonna gugenda kumalawo obukadde bwa doola 23 . Twakkiriziganya nti omulimu egenda kugukolera emyaka ebiri gyokka. Buli ssente omusuubuzi z’asasula ze tussa ku pulojekiti. Ekitukeereya kyokka be bannaffe abatasasula mu budde. Twagala buli atannamalayo asasule omulimu gutambule,” Lubwama bwe yagambye.

Lubwama yagambye nti bagenda kuzimba ebizimbe by’amaduuka agawera 2,000 ate waggulu basseeyo ekifo awasimba mmotoka n’omwaliiro gw’emidaala abamu gye bagenda okukolera emirimu gyabwe.

ABASUUBUZI b’akatale ka Kisekka batandise okusitula ekizimbe ekyokubiri eky’amaduuka agasoba mu 300 oluvannyuma lw’okutuusa ekyasooka ku mwaliiro ogwokutaano we kisoose okukoma. Ekisoose baakituumye Block A. Nakyo kirimu amaduuka agasoba mu 300. Kino kisigadde kutandika kusalibwamu maduuka n’okussaamu endabirwamu n’amasannyalaze oluvannyuma batandike okugabira abaamalayo omutemwa gwabwe. Ekizimbe ekyokubiri baakitandise mu May w’omwaka guno. Oludda olumu bamalirizza okwaliririra emitayimbwa n’okusitula ezimu ku mpagi mwe batadde ne lifuti egenda okutambuza ebyuma ebinene nga yingini z’emmotoka. Dayirekita w’ebyamawulire n’emirimu, Simon Peter Lubwama eyabadde ne bakulembeze banne abaakuliddwa Ssentebe Robert Kasolo Kisembo baalambudde omulimu ne basiima kkampuni ya ROKO Construction Ltd egukola. “Bw’olaba engeri gye baaliriramu wansi mu musingi n’emitayimbwa okkiriza nti ddala kkampuni erina abakugu. Bo tebakozesa mayinja wansi mu musingi okuggyako emitayimbwa eminene gye basiba n’enkokoto ne seminti. Oluvannyuma basitula empagi era kyalibadde kirungi buli muntu n’akozesa ku kkampuni ennene nga bwe tukoze,” Lubwama bwe yagambye. Yategeezezza nti baakakozesa ssente ezisoba mu bukadde bwa doola butaano. “Omulimu gwonna gugenda kumalawo obukadde bwa doola 23 . Twakkiriziganya nti omulimu egenda kugukolera emyaka ebiri gyokka. Buli ssente omusuubuzi z’asasula ze tussa ku pulojekiti. Ekitukeereya kyokka be bannaffe abatasasula mu budde. Twagala buli atannamalayo asasule omulimu gutambule,” Lubwama bwe yagambye. Lubwama yagambye nti bagenda kuzimba ebizimbe by’amaduuka agawera 2,000 ate waggulu basseeyo ekifo awasimba mmotoka n’omwaliiro gw’emidaala abamu gye bagenda okukolera emirimu gyabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...