TOP

Lukwago azinira ku ntoli za FDC

Added 25th June 2016

LOODI Meeya Erias Lukwago kati azinira ku ntoli za bakansala ba FDC ng’akubiriza olukiiko olufuga ekibuga ng’era bwe yabadde alonda omumyuka we, Hajjat Sarah Kanyike baamuwadde obukwakkulizo bwe yatuukirizza olukiiko okutambula obulungi.

Abamu ku bakansala nga bayozaayoza Kanyike.

Abamu ku bakansala nga bayozaayoza Kanyike.

LOODI Meeya Erias Lukwago kati azinira ku ntoli za bakansala ba FDC ng’akubiriza olukiiko olufuga ekibuga ng’era bwe yabadde alonda omumyuka we, Hajjat Sarah Kanyike baamuwadde obukwakkulizo bwe yatuukirizza olukiiko okutambula obulungi.

Baamutaddeko akazito nti bw’aba tabawadde kifo kya bumyuka, abakakase nti ebifo byonna ebisava ku bukiiko mwe basinziira okukola emirimu tagenda kubisaako muntu yenna. Akakwakkulizo kano Lukwago yakakkiriza era nga tebannaba kukakasa mumyuka we, olukiiko lwatudde ebifo baabigabanye dda.

Lukwago bwe yalonze omumyuka we, Hajjat Sarah Kanyike bonna bakansala awatali kwesalamu ne bamuwagira.

Okumukakasa kwatute eddakiika ezitaaweze 10 ng’aba FDC batuukiriza ndagaano gye baakoze ne Lukwago ku ludda lwe. Buli eyabadde ayimuka okwogera ng’awaana Lukwago okubalondera omumyuka alina ebisaanyizo bye baagala.

Ekiteeso ekyazzeeko kyabadde kya kulonda bakulembeze ba bukiiko obuteesa ku mirimu egy’enjawulo mu lukiiko. Ebifo munaana ku bifo 10 byatwaliddwa ba FDC.

Aba NRM baabawaddeko ekifo kimu ne bakansala abaalondeddwa nga tebalina kibiina ekifo kimu.

ENGABANA, ABA FDC;

  • Hajj Abubaker Kawalya ye ssentebe w’akakiiko akakola ku kutegekera ekibuga.
  • Ismail Ddamba Kisuze y’akulira ebyenjigiriza.
  • Kennedy Okello ye ssentebe w’akakiiko akakola ku nguudo.
  • Micheal Zziggwa akulira bya nsimbi
  • Alice Amonny akulira byabulamu.
  • Doreen Nyanjula akulira byansolooza ya misolo
  • Doreen Sabuka akulira bya mbeera z’abakozi n’enzirukanya y’emirimu mu kitongole.
  • Zamin Masunge akulira kakiiko akakola ku kikula ky’abantu .
  • NRM
  • Bruhan Byaruhanga ssentebe wa kakiiko akakola ku mateeka.

DP

  • Sarah Kanyike - mumyuka wa loodi meeya.
  • Moses Kataabo -

ABATALINA KIBIINA;

Fatumah Nsereko akulira kakiiko ka kubala bitabo.

Okulonda obukiiko bw’onna kwawedde loodi meeya tataddeyo kigambo kye okuggyako okuluhhamya nti ani asembye n’ani aleeta erinnya ly’ekifo ekirala.

Bakansala ba FDC ku lukiiko bali 18. Aba NRM bali 7. Aba DP bali babiri 2 sso ng’abatalina kibiina bali 3, okuli; Ibrahim Ssegirinya, Fatumah Nsereko ne Ismail Tabalamule.

Bakansala abakola emirimu egy’ekikugu tebannaba kulondebwa era kino kyabadde kyagala kutabula lukiiko ng’abamu balowooza nti terutudde mu butuufu.

Wabula Lukwago yawabudde nti si buli lukiiko olutuula nti lulagirwa bakansala bonna okuba nti baba balondeddwa .

Yagambye nti ekikkirizibwa gwe muwendo gwa bakansala okuba nti gwabaddewo era yeebuuzizza ku nampala w’olukiiko n’amuwabula nti lutudde mu mateeka era Bruhan Byaruhanga eyabadde akibuuzizza n’akikomya awo.

ENGERI ABA FDC GYEBAALUSE OLUKWE

Baatuula mu nkiiko ezisoba mu ssatu nga bateesa ku ngabanya y’ebifo era okusooka baali basibidde ku kya kutwala kifo kya mumyuka wa loodimeeya nga bagamba nti Erias Lukwata talina nkola yonna gy’asobola kuyitamu kubalemesa kifo ekyo kubanga be basinga obungi.

Ekifo bo baali bakyagaliza Kennedy Okello (ava Nakawa I) oba Alice Amony (Nakawa II).
Kino Loodimeeya olwakiwulira n’abayita mu butongole n’abannyonnyola.

Enkiiko ezaasooka tebaamuwuliriza kyokka ensonga n’azongerayo ewa pulezidenti w’ekibiina Mugisha Muntu eyabakakkanya n’abawabula nti Lukwago muntu waabwe gwe batateekeddwa kulemesa n’okusika naye ennyo omuguwa ng’alina ensonga ze zaayagala okuyisaamu.

Yabatuuza n’abagamba nti bakirize bo bagabane ebifo ku bukiiko mwe bagenda okuteeseza.

Kino bakansala baakiwuliriza naye ate mu bo bennyini engabana y’ebifo n’ebatabula.

Kigambibwa nti abamu ate nga be baasinga okulwana entalo z’ekibiina nga Ismail Ddamba baali tebabawadde. Bwe baddayo okwanjulira Pulezidenti w’ekibiina Mugisha Muntu ensonga eno n’abalagira banoonye mangu ekifo kwe bagenda okussa Ddamba.

Baawalirizibwa okusuula Catherine Nagawa eyali omumyuka wa Joyce Ssebuggwawo e Lubaga mu kisanja ekiwedde nga bagamba nti tanyiikidde mu ntalo z’ekibiina ezigenda mu maaso n’ezibaddewo ekifo ne bakironderamu Ddamba.

Oluvannyuma Loodi meeya yabayita mu makaage agasangibwa mu Bulwa Zooni e Lubaga n’abasaba nti bakirize okukakasa omumyuka we kubanga naye akirizza ebifo bye beegabidde.
Enjuyi zombi zaayingidde mu lukiiko nga buli omu amanyi omulala ky’ayagala era tewali yataambadde munne.

Aba NRM abaakulembeddwa Bruhan Byaruhanga ne Daudi Lwanga nabo baabadde balina ebifo bye baagala naddala ekyebyenjigiriza naye olw’okuba aba FDC baabadde baakyewadde dda tebaatawaanye kuvuganya nga bamanyi tebasobola kuwangula.

Byaruhanga wano we yasinzidde n’ategeeza nti olukiiko lwonna kati luvugibwa ba FDC . “tetusobola kubawangula. Twabalese bakole kye baagala era akafo kamu ke batuwadde ketugenda okuweerezaamua. Baalowoozezza nti ekyamateeka kitono naye ate kyamanyi nnyo era ffe tusirise tetwagala kutandikira mu ntalo,” Byaruhanga bwe yagambye.

Ate Moses Kataabu yagambye nti naye yabadde ayagala ekifo naye olw’okuba bali babiri mu lukiiko lwonna, asirise kubanga babawadde kya mumyuka wa Lukwago .

Yagambye nti kanso yonna kati eringa ya FDC naye ekirungi bawuliriza era bakolagana bulungi nabo.

Ismail Ddamba yagambye nti ekifo ekyaweereddwa owa NRM Byaruhanga ne Fatumah Nsereko atalina kibiina basaana babisiime mu mutima gw’okuba obumu kubanga nabyo byabadde biyinza okbutafunika.

Yagasseeko nti ebifo baabigabanye okusinziira ku bitundu bye bakiikirira. “ Buli konsituwensi twagezezaako okugiwa ssentebe w’akakiiko era bannaffe abataafunye bagenda kulondebwa ng’emyaka ebiri buli lwe tulonda giweddeko.”

 

 

 

 

Lukwago olukiiko oluddako yaluyise ku nkomerero ya mwezi guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abafumbo basangiddwa batemu...

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e...

Omugenzi Bob Kasango

Kiki ekyasse munnamateeka w...

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi...

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...