TOP
  • Home
  • Agawano
  • Kiwanda yeeyamye okusitula ebyobulambuzi

Kiwanda yeeyamye okusitula ebyobulambuzi

Added 25th June 2016

MINISITA omubeezi ow’ebyobulambuzi Godfrey Kiwanda Ssuubi olumukwasizza ofiisi n’awera okukola ennyo okulaba nga Uganda etutumuka mu byomulambuzi.

 Abadde minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi Agnes Akiror (ku ddyo) ng’akwasa Godfrey Kiwanda Ssuubi amudidde mu bigere fayiro za ofiisi gy’ayingidde. Akuba mu ngalo y’abadde minisita w’ebyobulambuzi, Maria Mutagamba, addiriddwa Polof. Ephraim Kamuntu.

Bino Kiwanda yabyogeredde ku kitebe kya minisitule y’ebyobulambuzi ku Rwenzori Towers mu Kampala ku Lwokuna, bwe yabadde akwasibwa ofiisi mu butongole.

Yagambye nti, “Okuyimusa eby’obulambuzi tulina okusooka okubimanyisa abaana baffe nga tubalambuza ebifo byonna eby’enkizo mu ggwanga.

Kino tukituukako nga tusala ku bisale ebisasulwa nga bagenze okulambula ebifo ebyo.” Minisita Maria Mutagamba abadde akulira minisitule eno yayozaayozezza Kiwanda olw’ekifo kye yatuuseeko n’amukuutira okukolagana obulungi n’abantu abali mu ofiisi eno.

Ye minisita omugya Polof. Ephraim Kamuntu eyakulirako minisitule eno yategeezezza nti kye kiseera okulaba ng’eby’obulambuzi by’ogerwamu amaanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannalotale mukwatizeeko Ka...

OMUBAKA wa gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza akubirizza Bannalotale beeyambise omutima gw'ekibiina kyabwe...

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....