TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mmotoka 5 zikoze akabenje ku lw'e Masaka: Abantu 2 bafudde!

Mmotoka 5 zikoze akabenje ku lw'e Masaka: Abantu 2 bafudde!

Added 25th June 2016

EMMOTOKA ttaano zikoze akabenje ku lw’e Masaka nga bukya abantu babiri ne bafa ate abasoba mu 10 ne balumizibwa.

 Emu ku mmotoka ezaakoze akabenje. Mu katono ye Ssemugera eyafudde.

Emu ku mmotoka ezaakoze akabenje. Mu katono ye Ssemugera eyafudde.

EMMOTOKA ttaano zikoze akabenje ku lw’e Masaka nga bukya abantu babiri ne bafa ate abasoba mu 10 ne balumizibwa.

Bino byabaddewo ku Lwomukaaga nga bukya essaawa nga 10:00 e Mitala Maria okumpi ne Kalandazzi.

Kiddiridde mmotoka y’ekika kya Canter UAY 101L ebadde etisse amatooke ng’eva Masaka edda e Kampala okutomeregana n’eya Forward ebadde egenda mu Lwera.

Ddereeva wa Canter Jaffali Ssemugera akolera ku siteegi y’e Nateete afiiriddewo abalala ne batwalibwa mu ddwaaliro e Gombe.

Poliisi y’ebidduka e Buwama ekulembeddwaamu agikulira, Afande Wabwire ebadde yaakatuuka mu kifo kino, mmotoka y’omusenyu nnamba UAR 355C ne yeekanga mmotoka endala ez’omusenyu n’egwa ne yeefuula abagibaddemu basatu ne batwalibwa mu ddwaaliro kyokka wayiseewo akaseera katono n’emmotoka y’omusenyu endala nnamba UAY 729P nayo n’ewaba n’etomera ekyuma ky’oluguudo awabadde abaserikale era ne bakwata ddereeva waayo olw’okuvugisa ekimama.

Wabula babadde bakyamuteekako empingu endala eya Forward ey’omusenyu ebadde eva e Kampala ng’edda e Masaka nnamba UAY 487Q n’ewaba n’etomera ekyuma n’egwa mu luwonko era abagibaddemu basatu ne bayisibwa bubi okubadde n’omu ategeerekeseeko erya Yusuf eyafiiridde mu ddwaaliro e Nkozi.

Bo abadduukirize basinze kugujubanira matooke agabadde ku mmotoka eyavuddeko akabenje kano era bakira balwanagana nga poliisi y’ebataasa. Afande Wabwire yagambye nti akabenje kano kavudde ku baddereeva kuvuga ndiima.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.