TOP

'Ova mu basajja kankukube nkutte'

Added 26th June 2016

POLIISI y'e Ndejje - Lubugumu eggalidde Vincent Kabanda 35 ow’e Lubugumu eyakubye mukyala we, Aisha Nakubulwa 28, oluvannyuma lw’okutwala omwana waabwe emmotoka gwe yakoonye mu ddwaaliro n’alwayo.

 Kabanda ne mukazi we Nakubulwa

Kabanda ne mukazi we Nakubulwa

POLIISI y'e Ndejje - Lubugumu eggalidde Vincent Kabanda 35 ow’e Lubugumu eyakubye mukyala we, Aisha Nakubulwa 28, oluvannyuma lw’okutwala omwana waabwe emmotoka gwe yakoonye mu ddwaaliro n’alwayo.

Nakubulwa agamba nti omwana emmotoka yamukoona ku Ssande era Kabanda talina kye yanyega wabula ng’eyamukoona yasasula eddwaaliro.

“Nnamututte mu ddwaaliro ku ssaawa 2:00 ez’ekiro ku Lwokusatu ne nkomawo ku 3:00 omusajja n’antabukira mbu mmulage ebbaluwa z’eddwaaliro.

Teyanninze kumuddamu n’ansamba mu kifuba n’antuulako n’annyiga amaaso nga bw’agamba nti mbadde nva mu basajja k’anzite,” Nakubulwa bwe yategeezezza.

Kabanda yategeezezza nti omukazi gwamusinze obutamulaga bbaluwa za ddwaaliro ekyamulowoozesezza nti yabadde ava mu basajja era takimenyawo yabadde mu basajja.

Atwala poliisi eno, John Katushabe yagambye nti bagenda kumutwala mu kkooti bamuvunaane.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...