TOP
  • Home
  • Agawano
  • Embeera y'omubaka Nambooze yeetaga kusabira: Ajulidde kumutwala South Afrika

Embeera y'omubaka Nambooze yeetaga kusabira: Ajulidde kumutwala South Afrika

Added 26th June 2016

ABOOLUGANDA lwa Betty Nambooze bakola ku mpapula ezinaabasobozesa okutwala omuntu waabwe okujjanjabwa e South Afrika ng’abasawo bwe baamuwadde amagezi.

 Omubaka Betty Nambooze ng'ali ku kitanda mu ddwaaliro e Mukono

Omubaka Betty Nambooze ng'ali ku kitanda mu ddwaaliro e Mukono

Bya PADDY NSOBYA ne MADINAH SEBYALA

........................................................................................................................

ABOOLUGANDA lwa Betty Nambooze bakola ku mpapula ezinaabasobozesa okutwala omuntu waabwe okujjanjabwa e South Afrika ng’abasawo bwe baamuwadde amagezi.

Nambooze Bakireke akiikirira Mukono Munisipaali yasoose kutwalibwako mu ddwaaliro lya Mukono Diocese Hospital oluvannyuma lw’okugwa mu kinaabiro ku ntandikwa ya wiiki ewedde.

Abasawo baamusindise mu Kampala Imaging Center okumukuba ekifaananyi mu lubuto oluvannyuma lw’okukizuula nti obuzibu bwonna buli mu byenda.

Nambooze yagambye nti ekifaananyi kyalaze nti alina amabwa mangi ku byenda era ne bamuwa amagezi addeyo e South Afrika gye baamujjanjabira mu 2009 afune obujjanjabi obusingawo era ne bamusiibula kyokka ne bamulagira atwale essaawa nnyingi ng’awummudde okutuusa lw’anaatwalibwa e South Afrika.

Robert Namugera omuyambi wa Nambooze, yategeezezza Bukedde nti bakyagoba ku mpapula n’okukola ku by’ensimbi ezeetaagibwa okusobola okufuna obujjanjabi obuyinza okutwala akabanga akawanvuko.

Yagambye nti, empapula ze bakolako kuliko eza Viza okuva ku kitebe ky’e South Afrika mu Uganda n’ez’amalwaliro ga Uganda ezibasindika mu ddwaaliro e South Afrika nga ziraga bye bazudde, bye bakozeeko n’ebyetaaga okussaako amaanyi mu bujjanjabi.

Mu kiseera kino Nambooze ali mu makaage e Mukono w’afunira obujjanjabi obukkakkanya obulumi.

Nnampala wa DP mu Palamenti Joseph Ssewungu yagambye nti, embeera gy’alimu eyongera okwonooneka buli olukya era kati tasobola kulya mmere ekaluba.

Ssewungu yagambye nti baawandiikidde Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga nga bamutegeeza embeera Nambooze gy’alimu, kubanga bwe kitakolebwa ayinza okufiirwa ekifo ng’ayosezza entuula eziwerako mu kiseera ky’anaamala ng’ajjanjabwa. Palamenti nayo esuubirwa okuyambako mu ssente z’obujjanjabi.

Ssewungu yagambye nti ebbaluwa baagiwandiise ng’aba DP kubanga Nambooze yayitiramu ku kkaadi ya DP era n’ekibiina kikolera wamu ne famire okukakasa nti afuna obujjanjabi atereere.

Mu 2009 Nambooze yamala omwezi gumu ng’ajjanjabwa mu Flora Clinic e Johannesburg, South Afrika era ne ku mulundi guno baagala gye baba bamuzza kubanga obulwadde obwamutwazaayo ku mulundi ogwo bufaanana n’obumuluma kati.

Nambooze bwe yakomawo mu December 2009 yategeeza bannamawulire nti abasawo e South Afrika bakyetegereza okuzuula oba obulwadde buno bulina akakwate ku butwa bw’ateebereza nti buyinza okuba nga bwamuweebwa mu kiseera we yasibirwa mu 2008.

Nambooze baamusiba n’abaali baminisita e Mmengo babiri okuli Medard Lubega Sseggona (kati akiikirira Busiro East) ne Charles Peter Mayiga (kati Katikkiro) nga July 18, 2008 kyokka oluvannyuma ne bayimbulwa.

..................................................................................................................

EBIRALA...

Omubaka Nambooze mulwadde

............................................................................................

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...