TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukazi atidde nga bba atutte abaana okubakebera omusaayi n'adduka awaka: Omusajja abaana abasibye ku Faaza

Omukazi atidde nga bba atutte abaana okubakebera omusaayi n'adduka awaka: Omusajja abaana abasibye ku Faaza

Added 26th June 2016

OMUKAZI adduse mu ddya mw’amaze emyaka 16, bba bw’atutte abaana okubakebeza omusaayi okuzuula oba ye kitaabwe omutuufu.

 Namata eyadduse ku bba. Balikuddembe n’abaana be yatutte ku musaayi.

Namata eyadduse ku bba. Balikuddembe n’abaana be yatutte ku musaayi.

OMUKAZI adduse mu ddya mw’amaze emyaka 16, bba bw’atutte abaana okubakebeza omusaayi okuzuula oba ye kitaabwe omutuufu.

Ku baana abana kyazuuse ng’ababiri abakulu ssi y’abazaala kyokka ng’ababiri abasembayo obuto babe.

Joseph Balikuddembe Kiroka 40, ow’e Bulaga – Bulenga mu Wakiso kati gamwesibye oluvannyuma lwa maama w’abaana okubulawo n’amulekera abaana omuli n’ababiri b’atamanyi kitaabwe mutuufu.

Harriet Namata 38, yagattibwa ne Balikuddembe 40, mu bufumbo obutukuvu ku Klezia ya St. Charles Lwanga e Kalungu mu 2002.

Baasooka kubeera mu muzigo mu Nyendo e Masaka we baava okujja mu Wakiso we baazimba era we babadde babeera.

Balikuddembe agamba nti omulenzi omukulu ye yamubbirako nga wayise ekiseera nti waliwo omusajja ajjira mu mmotoka RAV4 n’abaleetera amatooke, bwe bamala okumubuuza nga nnyaabwe abagobawo ng’asigala naye mu nnyumba.

Nti ensonga yazitwalako mu bazadde b’omuwala mu maka g’omugenzi, Dodovico Zirabamuzaale e Kawule Kalungu kubanga wano we baakolera n’omukolo gw’okwanjula mu 1998.

Agamba nti okuva omukazi lwe yatandika okukukuta n’abasajja, embeera yatandika okwonooneka n’emirimu ne gicankalana. Eyalina amaduuka e Nyendo ng’alina n’emmotoka ekola Special yamaliriza ssente zeevedde era mu kiseera kino avuga bodaboda ku siteegi ya Arua Park mu Kampala.

Balikuddembe ne Namata ku mbaga yaabwe.

 

OMUSAJJA ATANDIKA OKUBUUSABUUSA ABAANA

Balikuddembe agamba nti: Twafuna omwana asooka naye nga muddugavu nnyo ne mbuuza nnyina nti, “Omwana nga muddugavu nnyo ate ng’ewaffe n’ewammwe teri baddugavu kutuuka wano?”. Omukazi yanziramu nti kirabika engeri gye yali akeera okusiika ebya butto luyinza okubeera olubabu lw’omuliro nga lwe lubireese.

Omwana bwe yavaako akalira nga buli lwe ziwera saawa 4:00 ekiro ng’atandika okukaaba okukeesa obudde.

Yang’amba nti kaamutwaleko ewaabwe (gye bazaala omukazi) bamusalire ku magezi, wabula yagenda okukomawo ng’alina essaati bagitungiddemu ekintu.

Yantegeeza nti essaati ya kkojja wa mwana era baagitaddemu eddagala nga bw’anaagireresa omwana tajja kuddamu kukaaba.

Embeera eno ye yatuuka ne ku mwana owookubiri wabula owookusatu n’owookuna tebaakaba batyo.

Bwe nnafuna amawulire nti waliwo omusajja ajja awaka nga ssiriiwo okulaba ku baana ne mbibuuza omukazi wabula byaggulawo lutalo mu maka ne mpalirizibwa okufuna omuzigo we neewogoma e Masajja mu Makindye Ssaabagabo; kyokka kino kyayongera kuwa musajja oli ekyanya okwegazaanyiza awaka.

Mu 2013 yafuna ekirowoozo ekitwala abaana ku musaayi (DNA) era kino omukazi yakiwakanya nnyo kyokka Balikuddembe n’akiremerako.

Balikuddembe yagambye nti omukazi bwe yalabye omusajja amaliridde kwe kusibamu ebibye n’abulawo era kiteeberezebwa nti ali Juba mu South Sudan.

Namata bw’afaanana kati.

 

Abaana bonna bana (amannya galekeddwa) yabatutte mu Lancet Laboratories ne bakeberebwa kyokka ne kizuulwa ng’abaana abakulu ababiri ssi ba Balikuddembe. Wabula kati gamwesibye kubanga omukazi eyanditutte abaana ewa kitaabwe omutuufu yabuzeewo.

OMUSAJJA YEEZINZE KU FAAZA

Balikuddembe agamba nti omu ku bantu b’ateebereza okubeera nga be bazaala abaana abakulu ye Fr. Emmanuel Bukulu era ensonga yazitegeezaako abakulu e Kitovu abatwala Essaza ly’e Masaka Faaza ono gy’aweereza.

Kyokka Fr. Bukulu yannyonnyodde nti Balikuddembe agezaako kumwonoonera linnya n’okumutiisatiisa amuggyemu ssente nti era yamusaba obukadde 100 ku nsonga zino z’atamanyiiko mutwe na magulu.

Omwogezi w’Essaza ly’e Masaka Fr. Joseph Kasangaki yagambye nti ensonga zino zirudde kubanga yazibatuusaako nga n’abaana aboogerwako tebannatwalibwa kukeberwa musaayi kyokka bwe baakola okunoonyereza ne bazuula nti Fr. Bukulu tazirinaako kakwate konna.

Balikuddembe ayagala Faaza akkirize bamutwale ku musaayi kyokka Fr. Bukulu kino yakigaanye n’ategeeza nti okukkiriza okumuggyako omusaayi kiba kitegeeza nti akkiriza nti yawaba n’akolagana ne Namata mu ngeri ekontana n’empisa za Eklezia ezikugira Abasosodooti ebikolwa by’obufumbo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.

Ekibalo ky'okulima ennyaany...

ENNYAANYA kireme ekyettanirwa abangi olw’okuba kikula mangu ate nga kirina akatale okutandikira ku bantu b’okukyalo...

Basajjabalaba

Ebyapa Basajjabalaba by'ali...

EBYAPA omugagga Haji Hassan Basajjabalaba bye yafuna ku ttaka lya Panda PL e Luzira, bisattiza abatuuze nga bagamba...

Abatuuze nga bagezaako okuzikiriza omuliro

Omuliro gwokezza amayumba 1...

ABATUUZE b’e Kawaala bali mu maziga olw’omuliro ogugambibwa okuva ku masannyalaze okusaanyaawo amayumba agawera...

Abakozi ba Imperial Royale ...

ABAKOZI ba wooteeri ya Imperial Royale bavunaaniddwa okujingirira ebiwandiiko n’okufiiriza gavumenti ya Uganda...