TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Palamenti yeekenneenya mpapula za Nambooze okumutwala ebweru ku bujjanjabi

Palamenti yeekenneenya mpapula za Nambooze okumutwala ebweru ku bujjanjabi

Added 28th June 2016

AKAKIIKO ka gavumenti akavunaanyizibwa ku byobulamu, katandise okwekenneenya empapula ez’eddwaaliro ez’omubaka Betty Nambooze Bakireke okusalawo oba gavumenti esasulira obujjanjabi bwe e South Afrika.

 Loodi meeya Lukwago ng’atudde ne Nambooze (ku kkono) ku kitanda e Mukono

Loodi meeya Lukwago ng’atudde ne Nambooze (ku kkono) ku kitanda e Mukono

AKAKIIKO ka gavumenti akavunaanyizibwa ku byobulamu, katandise okwekenneenya empapula ez’eddwaaliro ez’omubaka Betty Nambooze Bakireke okusalawo oba gavumenti esasulira obujjanjabi bwe e South Afrika.

Nambooze akutte wiiki eyookusatu ng’olumbe olutannategeerekeka lumukubye wansi okuva June 11, 2006, lwe baamuyooyayoola okuva e Seeta mu kifo we yali ne mikwano gye nga banywamu n’aweebwa ekitanda mu ddwaaliro lya Mukono Church of Uganda.

Mu ddwaaliro e Mukono, Nambooze yamala ku kitanda wiiki nnamba ng’abasawo banoonya obulwadde obumuluma kyokka nga tebabulaba kwe kumusindikako ne mu kifo mu Kampala ekiyitibwa Imaging center, okumwekebejja ebitundu bye eby’omunda mu lubuto okukakasa awava obulwadde.

Ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde, ng’alaba embeera yeeyongera kuba mbi, Nambooze yawandiikidde Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga ng’asaba Palamenti emusasulire ensimbi z’obujjanjabi e South Afrika gy’ayagala abakugu bamwekenneenye bulungi okuzuula obulwadde si kulwa afiira mu by’okusaaga.

Omwogezi wa Palamenti, Chris Obore yategeezezza eggulo nti ebbulawa ya Nambooze, olwatuuse ewa Sipiika nasindikibwa mu kakiiko akayitibwa Uganda Medical Board, kubanga ke kalina obuyinza okusalawo oba omubaka yenna ayongerwayo ebweru okujjanjabibwa.

“Palamenti erina ensimbi zonna ezeetaagisa okujjanjaba ababaka baayo munda n’ebweru w’eggwanga wabula balina kumala kufuna lukusa olwa Uganda Medical Board,” Obore bwe yategeezezza.

Mikwano gya Nambooze gyategeezezza nti beetaaga obukadde nga 100 okumutwala e South Afrika okwekebejjebwa abakugu mu byuma eby’omulembe ebitali mu Uganda.

Ng’oggyeeko okusasulira obujjanjabi, yeetaaga ne tikiti y’ennyonnyi ne bba Bakireke wamu n’ensimbi ez’okukozesa ebbanga ly’anaamala e South Afrika Loodi Meeya Erias Lukwago, eyakyaliddeko Nambooze awaka e Mukono, yategeezezza nti enteekateeka zikolebwa okulaba nga Nambooze agenda e South Afrika mu wiiki eno ng’embeera ye tennasajjuka.

OBULWADDE BULI KU KATAAGO

Nambooze okutuusa okusalawo okuwandiikira Palamenti, yamaze kutegeezebwa abamu ku basawo abaamukebedde nti obubonero bw’obulwadde bwe bulaga nti akataago ke kayinza okubaako ekikyamu.

Akataago kye kitundu ekyokubiri ekiriraanye ekibumba n’akalulwe nga ka mugaso mu lubuto kubanga ke kasengejja ssukaali era kavaamu amazzi ageeyambisibwa ebyenda mu kugoyaagoya emmere g’okugiggyamu ebiriisa omubiri.

Emikutu gya yintaneeti egyogera ku bulwadde buno giraga nti butera kuva ku bintu eby’enjawulo okuli okunywa omwenge, obutwa, kkansa n’ebirala.

Nambooze yaweereddwa amagezi okugenda mangu mu basawo abakungu ebweru beekebejje akataago n’ebitundu bye ebyomunda okuzuula awali obuzibu, obulwadde bwe bubaamu bujjajjabwe mangu nga bwe gwali mu 2009, bwe yatwalibwa mu ddwaaliro lya Flora Hospital mu Johannesburg.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...