TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaalemera ku luguudo lwa Nothern by pass bakiguddeko

Abaalemera ku luguudo lwa Nothern by pass bakiguddeko

Added 2nd July 2016

Abaalemera ku luguudo lwa Nothern by pass bakiguddeko

 Ekimotoka nga kisenda ebimu ku bintu by'abantu abaalemwa okuva awagenda okuyita ekkubo

Ekimotoka nga kisenda ebimu ku bintu by'abantu abaalemwa okuva awagenda okuyita ekkubo

ABABADDE bagaanye okusengula ebintu byabwe mu kitundu awagenda okuyita oluguudo lwa northern by pass bakiguddeko  ebintu byabwe bwe bisendeddwa oluvannyuma lw’okubalaalika okusenguka ne balema .

Abasuubuzi n’abatuuze ku Kaleerwe  baakigguddeko tulakita bwe zaatandise okusenda amayumba  gaabwe , amadduuka  emiddaala , konteyina ng’okusenda kuno kwatwaliddeMU ne paaka ya Mambule  ne bagiryako ekitundu nga kati mmotoka tezirina weziyiya kuyingira mu kifo ekyasigaddewo wabula wabaddewo kukubagana empawa mu bantu nga bagamba nti tewali kulabula kwakoleddwa .

Abalala obwedda bategeeza bannaabwe nti  bukya b’ekwasa ku luno balimba kuba ku Lwomukaaga  nga 25 June  Mmotoka yayitamu ng’egenda erabula abatuuze n’abasuubuzi  okusengula ebintu byabwe  era n’olunaku lw’okumenya  ne luwebwa nti Mande kyokka bamenye Lwakubiri kati banenya ani , abantu  abaasobodde baayanguye okufulumya ebintu byabwe ne banoonya mmotoka okubitwala .

Jane Nansamba omutuuze w’omu Kibe yategeezezza nti kituufu baalabulwa naye babadde  tebalina busobozi busenguka  , yagasseeko nti omusango guli ne bananyini mayumba abatakola kumanyisa bapangisa baabwe  mu budde ng’abamu baakitegedde ku Lwakubiri nti ebifo omuli amayumba gaabwe byatundwa . “UNRA kirabika ntuufu naye bannanyini bizimbe lwaki babadde tebatulabula kuba bbo baasasulwa dda ssente kuba abamu twekanze nnyo okulaba tulakita nga zitumenya kati banaffe ababadde baagenze ku mirimu emizigo gyabwe gimenyweddwa abayaaye ne babba ebintu byabwe” Nansamba bwe yategeezezza .

Gyebuvuddeko abakulembeze b’obutale  ku Kaleerwe baakuba enkiiko ezenjawulo ne bategeeza abasuubuzi baabwe ku nsonga y’okumenya ebimu ku bifo byabwe era nga baabagumya nti bagenda kubasalira amagezi okulaba nga benyigirizza mu bifo ebinaaba bisigaddewo basobole okusigala nga bakola Martin Acaye  akulira ebikwekweto ku poliisi ye Wandegeya yateegeezza nti bbo baawerekedde abasenda okubawa obukuumi nga tewali buzibu buyinza ku balukawo , yagasse nti abantu tewali yakoze obuzibu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...