TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Tanga Odoi alangidde Tamale Mirundi obutamanya kwogera Luzungu

Tanga Odoi alangidde Tamale Mirundi obutamanya kwogera Luzungu

Added 4th July 2016

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda mu kibiina kya NRM, Tanga Odoi azzeemu okugugumbula Tamale Mirundi obutamanya kwogera Luzungu n'amulagira n'okwetondera Kabaka ne baminisita olw'okukozesa Olulimi Oluganda okubavvoola.

 Tanga Odoi ng'ali mu lukung'aana lwa bannamawulire

Tanga Odoi ng'ali mu lukung'aana lwa bannamawulire

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda mu kibiina kya NRM, Tanga Odoi azzeemu okugugumbula Tamale Mirundi obutamanya kwogera Luzungu n'amulagira n'okwetondera Kabaka ne baminisita olw'okukozesa Olulimi Oluganda okubavvoola.

Bino abyogeredde mu lukung'aana lwa bannamawulire lw'atuuzizza ku ofiisi ye leero ku Mmande era mw'asinzidde n'asaba ekitongole ky'ebyenjigiriza mu ggwanga okuvaayo okutangaaza ku mivuyo egiviiriddeko okumwonoonera erinnya.

Yagambye nti omulimu gw'ekitongole kino kukakasa buyigirize bw'abantu wabula abantu abamu nga Tamale Mirundi abatasobola na kukuba lukung'aana lwa bannamawulire mu lulimi Lungereza beefuula abateegera ennyo.

Odoi alabudde Mirundi okukomya okugenda ng'abugeesa eng'ambo nti Odoi aggya ssente ku beesimbawo n'agamba nti ye musajja mugagga kuba n'omusaala gw'afuna gumumala bulungi era teyeesoma nga Mirundi bw'akola.

“NRM erina ssemateeka alambika omuwendo gwa ssente omuntu ayagala okwesimbawo ku kifo ekyenjawulo z'alina okusasula era omuwanika w'ekibiina y'avunaanyizibwa ku bino wabula si nze,” Odoi bwe yannyonnyodde.

Ono  alambuludde enteekateeka z'ebyokulonda mu disitulikiti empya ttaano ezaakatondebwawo okuli; Kibale, Kagadi, Kakumiro, Lubanda ne Omoro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amaka ga Bisaka agali ku kyalo Kapyemi.

Obugagga bwa Bisaka buwunii...

OBUGAGGA Bisaka bw'alese obuli mu buwumbi buwuniikirizza abantu abagamba nti, tabadde na mulimu mutongole gw'aggyamu...

Abantu nga baaniriza Pulezidenti e Busega.

Abawagizi ba pulezidenti Mu...

Abawagizi ba pulezidenti Museveni wano mu Kampala bakwatiridde ku makubo okuva e Busega okumwaniriza nga bamukulisa...

Honarebo Ssegirinya ng'alumya abayaaye.

Ssegirinya wansuubiza okunf...

NKUBAKYEYO Goolixy Nalumansi eyali muninkini w'omubaka omulonde owa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya akiise ensingo....

Kansala Bitamiisi (ku kkono) abantu gwe baagambye nti muto.

Omwana asuuzizza maama eggaati

ABANTU bawuniikiridde bwe balabye omuwala abamu gwe baayisa omwana ng'awangudde obwakansala okukiikirira eggombolola...

Bakaluba Mukasa.

NUP ewangudde disitulikiti ...

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kyeyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa bassentebe ba disitulikiti...